Amawulire

Poliisi gw'erudde ng'enoonya ku by'okukabasaanya omwana amagye gamukutte azze okwewandiisa agayingire

Omusajja poliisi gw'erudde ng'eyigga ku bigambibwa nti yasobya ku muwala atanneetuuka, amagye gamukutte azze okwewandiisa n'okwekebejjebwa .

Poliisi gw'erudde ng'enoonya ku by'okukabasaanya omwana amagye gamukutte azze okwewandiisa agayingire
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusajja poliisi gw'erudde ng'eyigga ku bigambibwa nti yasobya ku muwala atanneetuuka, amagye gamukutte azze okwewandiisa n'okwekebejjebwa .

Micheal Ojok 20, omutuuze w’e Agali mu muluka gwa Akware mu ggombolola y'e Adawre mu disitulikiti ya Otuke, y'akwatiddwa e Lira Recruitment Centre , amagye bwe gabadde gagenda mu maaso n'okwetegereza abo abavudde e  Atuke ne Alebtong okuyingira amagye.

Ojok (wakati) gwe baabadde banoonya eyazze okwewandiisa.

Ojok (wakati) gwe baabadde banoonya eyazze okwewandiisa.

Kiddiridde omu ku baserikale ba poliisi, okulaba erinnya lya Ojok n'atemya ku banne ku poliisi Otuke gye baaloopa omusango oguli ku nnamba 27/06/07/2025. Taata w'omuwala Jolly Okello agamba nti omwana yalina emyaka 16 we baamutuusizaako obuliisamaanyi mu 2025.

Akuliddemu ekibinja ky'omukaaga ekiri mu kwekenneenya n'okuwandiisa abantu , Col. Gal Frasser Mpandwa , amusibe asoose kumukwasa amyuka omubaka wa gavumenti owa Otuke Isaac Opia Opeo.

Omwogezi w'ekibinja eky’omukaaga ekiri mu kuwandiisa, Maj. Bilal Katamba, agambye nti, amagye tegawandiisa muntu yenna , nga bamuteebereza okubeera omuzzi w'emisango , nti era baamukwasizza poliisi enoonyereze.

Tags:
Magye
Kukabassanya
Kukwata
Kunoonya
Poliisi