OMUSAJJA agambibwa okuba ng'aludde ng'abba pikipiki okuva ku bazivuga mu bitundu by'e Nsangi, Maya, Kyengera,Nabbingo ne Busega, akwatiddwa poliisi.
Akwatiddwa, ye Yusuf Mweruka 31, omutuuze w'e Nsangi Central e Kyengera mu Wakiso era nga kigambibwa nti pikipiki eyo, baagibbye ggulo ne bagitereka mu Savanna Parking era gye bamukwatidde ng'ategeka kugitunda mu Ndeeba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala, agambye nti omuyiggo gw'abalala, gugenda mu maaso.