Poliisi y'ebidduka ekoze ekikwekweto e Matugga ku lw’e Ggulu ne bakwata bbaasi, ttakisi n’emmotoka ennene eziri mu mbeera embi ssaakoa baddereeva baazo abatabadde na bisaanyizo kuvugira ku kkubo.

Musinga ne Kananura nga baliko bye bakebera bwe baabadde ku kikwekweto kino

Ttakisi gye baakutte ng'ekubyeko abasaabaze kabindo.
Mubaddemu ttakisi, bbaasi n'ebimotoka ebinene ku misango egy’enjawulo era nga baddereeva baakuvunaanibwa mu kkooti.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura asabye abakozesa enguudo, okweyisa obulungi n'okugoberera amateeka mu kaweefube w'okukendeeza obubenje.

Drone gye baakutte ng'ekubyeko ebintu.