Myco Chris atabukidde aboogera ku ssezaala we omugenzi Alex Mukulu.

Chris (asooka ku kkono) ne mukyala we, amuddiridde bwe baabadde ku national theatre mu kukungubaga
Myco agamba abantu bandibawaddemu akaseera basobole okukungubagira omwagalwa waabwe okusinga okwogera ebitalina ebigere n’amagulu.
‘Lwaki abantu mu kaseera nga kano we balina okubeera n’ekisa n’okwogerera ebirungi ku mugenzi ate lwe basinga okukola ebitagya?’ Myco yeebuzizza mu kiwandiiko kino.
Era yagenze mu maaso n’asaba buli alina ekibi ky’amanyi ku abadde ssezaala we akisirikire wabula amusabire emirembe gy’alaze.