NAMWANDU wa Alex Mukulu Juliet Nyonyintono yejjusizza lwaki yalekawo Mukulu mu nnyumba obwomu, olumbe ne lumuluma nga talina amuweereza katunda.
Bino Nyonyintono abyogeredde ku National Theater mu Kampala eggulo mu kukungubagira omwoyo gw’omugenzi munnabitone Alex Mukulu.

Juliet Nyonyintono maama w'abaana ba Alex Mukulu
Wabula Mukulu yali kyaliko akikakasa era yamulemerako okutuusa lwe yamufumbirwa ne bazaala abaana babiri. Abaana bano baabazaalira mu mukwano omuyitirivu kyokka wakati awo ne bafuna obutakkaanya ne baawukana ye n’agenda mu nsi z’ebweru n’amuleka wano.
Wabula bwe yategeera nti Mukulu olumbe lumubala embiriizi, yasalawo okukomawo amujjanjabe era bwe yamulaba n’asanyuka wadde yali agonze. Embeera eno yamukwasa ekisa, ne yejjusa lwaki yamulekawo ebbanga eryo lyonna lyamaze ng’ali yekka, ne kimuwaliriza okwenenyeza Katonda amusonyiwe.

Maama w'abaana Juliet Nyonyintono ne bamulekwa ba Alex Mukulu
Wadde Mukulu yafudde, naye Namwandu yagambye nti agenda kusigala mulamu kubanga alesse omwana Edgar Mukulu, eyatwala ebitone bye byonna, n’asaba Bannakatemba okumukwatako asobole okutwala mu maaso omukululo gwa kitaawe.

Edgar Mukulu

Ennyumba ya Alex Mukulu
Bano boogedde ku bulamu bwa Alex Mukulu n’embeera ze nti bibadde bizibu ddala okutegeera era teri munnakatemba yenna yagambye nti abadde ye amutegeera.