Mu kwongera okulwanyisa obubbi n'ebikolwa ebikyamu, poliisi eyodde abantu abasoba mu 100 mu bikwekweto ebikoleddwa nga bukyamu, mu Kampala, Mukono ne Wakiso.
E Kira road, Kisaasi, Ddungu zzooni, kikulu zzooni, n'awalala, bakutte 13. E Kabalagala ekikwekweto nayo kiyodde 38.
Mu bikwekweto bino, poliisi ezudde ebintu ebiwerako ebyeyambisibwa okumenya amayumba, ebintu ebigambibwa okuba ebibbe, n'ebiragalalagala. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala, agambye nti bakyabasunsulamu.