Amawulire

Poliisi eyingidde mu nsonga z’akabinja k’ababbi b’ettaka akatigomya abatuuze

ABATUUZE b’e Mukono basattira olw’akabinja k’abavubuka abamenyi b’amateeka abeeyita Abafakinyi abawamba ettaka n’okutulugunya abantu.

Poliisi ng’ekutte ssentebe Muhammed.
By: Bya DAVID MUSISI KALYANKOLO, Journalist @New Vision

ABATUUZE b’e Mukono basattira olw’akabinja k’abavubuka abamenyi b’amateeka abeeyita Abafakinyi abawamba ettaka n’okutulugunya abantu.


Ekibinja kino kyasembyeyo kuwamba ttaka lya famire ya mutuuze munnaabwe amanyiddwa nga Joseph Kiwanuka Bulimu Musenze nga lya yiika 311.5 ku kyalo Luwunga mu ggombolola y’e Nama.

 

Tebakoma ku kya kuwamba ttaka, wabula beenyigira ne mu bumenyi bw’amateeka obulala omuli okuteeka emisanvu mu makubo naddala ekiro n’okunyaga abantu nga kwe batadde okubakuba n’okubatema.


Fred Kyabi agamba, Abafakinyi baamukuba ne bamwasa omutwe mu biseera by’okulonda bassentebe b’ebyalo. Bwe yagenda mu ddwaaliro, yateekebwamu akaseke mu mutwe akaamuyamba okunuuna omusaayi ogugambibwa nti gwali gumugenze mu bwongo.

 

Ate Phiona Namirimu nga naye w’e Luwunga alumiriza Abafakinyi okumukuba n’avaamu olubuto. “Okuva lwe nalumbibwa Abafakinyi ne bankuba ne ntuuka n’okufiirwa omwana wange eyali mu lubuto, embeera yange tetereeranga. Ne mu kiseera kino nkyavaamu omusaanyi, era nsaba abeebyokwerinda batudduukirire kubanga embeera tuyita mu nzibu ddala,” Namirimu bwe yawanjaze. Bagamba, ne bwe beekubira enduulu ku poliisi tebayambibwa.

 

Emmanuel Ssekyanzi yagambye nti okumanya Abafakinyi bajoozi, olunaku lwe banaaziba ekkubo basooka kulaalika batuuze nti, “Ku ssaawa bwe ziti mube nga mweggalidde
kubanga tugenda kuba tukola!” era bwe weesisiggiriza n’otambula olugwamu.


Ssekyanzi agamba nti, ne ssentebe w’ekyalo alinga atya akabinja kano kubanga bukyanga bazinda ekyalo kye, tewali kye yali akoze ate ng’ensonga zimutuukako era aziraba.


SSENTEBE W’EKYALO AKWATIDDWA

Ebitongole by’okwerinda omuli poliisi nga bakulembeddwaamu RDC we Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka, DPC w’e Mukono Joseph Nsabimana ne SSP Fred Lumala baakubye olukiiko ku kyalo Luwunga.


Abatuuze baalombozze engeri Abafakinyi gye babamazeeko emirembe nga bakulemberwa
ssentebe w’ekyalo kuba emmere yaabwe bagirya kyere.


Olukiiko gye lwaggweeredde nga ssentebe Muhammed Muwonge, Abdallah Ssozi agugulana ne nnannyini ttaka ne Florence Nassozi nga bakwatiddwa.

Tags:
akabinja
ababbi b’ettaka
abafakini
Abafakinyi