Abatemu abatannamanyika, bayingiridde omuwala abadde akola ku bbaala emu ne bamutemula oluvannyuma ne basibawo ne babulawo.

Omugenzi Namuwulya eyafumitiddwa n'attibwa mu kazigo ke e Bukoto.
Attiddwa ye Jovia Namuwulya 22 ng'abadde apangisa mu zzooni ya Mukalazi e Bukoto mu Kampala, omulambo bagulese mu kitaba ky'omusaayi ennyumba nga nsibe.

Rose (ku ddyo) poliisi gw'eyigga ku by'okutta Jovia (Ku kkono)
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti, omugenzi abadde mukozi mu bbaala emu era nga mu zzooni eyo, abadde yaakamalamu emyezi musanvu nti omuwala Tulindamukama kwe kumwegattako ne babeera bombi.
Agasseeko nti omuyiggo gw'omuwala ono, agambibwa okwenyigira mu ttemu lino, gugenda mu maaso.