Omuwala ow'emyaka 21 avudde mu mbeera n'akuba omusajja ow'emyaka 65 enkumbi ku mutwe n'amuttirawo.
Ettemu lino, libadde ku kyalo Buyola mu ggombolola y'e Buyobo mu disitulikiti y'e Sironko, omuwala Miriam Nafuna 21 bw'asse Moses Busima 65 .
Kigambibwa nti Busima yaguzizza Nafuna ensawo y'amanda ku 8,000/- era Nafuna n'asasulako 4,000/- n'asigala nga bamubanja 4,000/- .
Kitegeezeddwa nti Busima bw'agenze okukima ssente ezibadde zisigaddeyo, nti Nafuna kwe kuva mu mbeera n'amukasukira amanda ge nti abadde agayoola wansi, n'amukuba enkumbi ku mutwe n'akalirawo.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti Nafuna bamukutte ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso