AKEETALO keeyongedde mu kkooti ez’enjawulo ku misango gy’okulonda ng’ababaka balwana okutaasa ebifo byabwe.
Emisango 346 nga kuliko 107 egy’ababaka ba Palamenti, gye gyatandise okuwulirwa mu kkooti ez’enjawulo ku Mmande ng’ekitongole ekiramuzi kyataddewo abalamuzi 100 okugikolako mu myezi ebiri gyokka.
BALOOYA BA NAMEERE NE NALUBOWA BAKKAANYIZZA KU BAJULIZI
Omulamuzi Bernard Namanya ataddewo olwa September 22, okutandika okuwulira obujulizi mu musango Rose Nalubowa gwe yawaabira Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Justine Nameere ku bigambibwa nti yalangirirwa mu bukyamu.
Bannamateeka ba Nalubowa ne Nameere bakkaanyizza ku bajulizi era kkooti yaakutandika na kuwulira bujulizi okuva ku ludda oluwaabi. Baakutandika ne Nalubowa omuwaabi, ku kwemulugunya kwe yakola; lwaki kkooti yalagira baddemu okubala obululu ne balangirira Justine Nameere?
OGWA MINISITA SSEKINDI
Kkooti eragidde okuwulira omusango gw’omubaka omukyala ow’e Kalungu gutandike nga September 24 n’obujulizi bwa Hellen Nakkeya eyawaabira minisita omubeezi ow’amazzi Aisha Ssekindi.
Bano nabo bawaddeyo abajulizi be baagala okuwulira mu musango guno nga Nakkeya ayagala okulonda kuddibwemu nti kwetobekamu efujjo omuli okutta n’okwonoona emmotoka z’abawagizi be.
Oludda oluwaabi lwagala abajulizi 3 okuli Minisita Ssekindi, akulira eby’okulonda e Kalungu Teddy Nabukenya ne Willy Jjuuko ate oludda oluwawaabirwa lwagala 8 nga Nakkeya y’agenda okusooka okwewaako obujulzi ku mivuyo.
SODO NE JET KUDDAMU WIIKI EJJA
Jet Tumwebaze yasoose kusiba kalippo oludda lwa Godfrey Aine Kaguta gwe yawaabira nti y’agenda okwewolereza mu kkooti kubanga bingi bye yalaba era bye yayitamu kyokka bannamateeka ba Aine Kaguta abaakulembeddwa Geoffrey Kandeeba ne bakiwakanya mumaaso g’omulamuzi Thomas Ocaya.
Omulamuzi agenda kubasalirawo eggoye oba akkirizibwa okwewolereza nga September 23, 2026 omusango lwe guddamu ogw’omubaka wa Mawogola North mu Palamenti.
NAMUGGA AWERA KU DEZ
Eyali omubaka Gorreth Namugga yawaabira Dez Byuuma Oswaldo mu kkooti ng’agamba e Ssembabule baawamba abalonzi ate n’obululu baabuyiwanga mu bbookisi kyere era asaba okulonda kuddibwemu. Omulamuzi Ocaaya yagwongezzaayo okutuuka nga September 23, 2026.
FAYIRO KU KINYAMATAMA EZUUSE
Grace Nalubega eyawaabira Juliet Suubi Kinyamatama kyaddaaki yazze engulu oluvannyuma lwa fayiro ye eyabadde yabuze okuzuulibwa. Ono yeemulugunya nti munne agenda akyusakyusa amannya nti olumu yeeyita Juliet Kobusingye ate olulala ne yeeyita Juliet Suubi Kinyamatama, n’agamba nti bano baba bantu ba njawulo. Omulamuzi Bernard Namanya yasazeewo omusango guddemu nga September 22, 2026.
OGWA NABUKENYA E LUWEERO GWONGEZEDDWAAYO
Omulamuzi Vincent Emmy Mugabo yataddewo olwa September 30, 2026 okutandika okuwulira emisango gy’ababaka abakyala mu Luweero ne Nakaseke. Omubaka omukyala owa Luweero, Brenda Nabukenya (NUP) aleppuka ne Agnes Kirabo owa NRM ate omubaka omukazi owa Nakaseke Sarah Najjuma abbinkana ne munnamawulire Ester Nakawooya (NUP).
EGY’E BUVUMA GITANDISE E LUGAZI
Omulamuzi Sarah Langasiu eyavudde e Wakiso agenda kuwulira emisango ena egyawaabibwa. Gino kuliko ogw’omubaka omukyala owa Buvuma nga Suzan Mugabi (NUP) yaloopa Judith Nagujja (NRM ). Mugabi ayagala akakiiko k’ebyokulonda kabawe empapula kwe kaasinziira okulangirira Nagujja. Gwasindikiddwa ku ntandikwa ya October wa 2026.
NJERU MUNICIPALITY MP
Moses Lukanga Musanje (NUP) eyawangula ekifo ekyo aleese bannamateeka abakulembeddwa Kenneth Paulo Kakande okumuwolereza ku musango ogwamuwaabirwa Kabuye Badiru Mpoza (NRM ). Bannamateeka be baagala akulira ebyokulonda aleete obukakafu ku birayiro bye yakuba ng’akalulu kawedde. Bagamba, yalangirira Musanje wakati mu kutya ng’abantu baagala kumutuusaako bulabe era tewaali bukuumi bwonna.
MBARARA
Abalamuzi basatu okuli; Tom Chemutai, Mary Akit ne Bony Issaca Teko be bagenda okuwulira emisango 10 mu disitulikiti ezikola ogutundu gw’e Mbarara.
Emisango kuliko ogwa Loyda Kyarikunda Muhimbura avunaanibwa eyaliko omubaka wa Mbarara District, Margret Rwebyambu gwe gumu ku gyo. Omulala gwe gwa Dr. Robert Mwesigwa Rukaari gwe yawawaabira omubaka wa Mbarara City North, Christopher Bakashaba.
Omulala gwa eyali omubaka wa Isingiro North, Arinitwe Ham ng’avunaana omubaka Anthony Twesigye. Waliwo n’ogwa Benon Mugume eyawaabira Kyabwisho Gumisiriza mmeeya wa Mbarara City North nti yamubbako obuwanguzi.