Amawulire

Ebifulukwa by'obuyumba ebikweka abamenyi b'amateeka bisattizza ab'e Mutungo

Abatuuze b’e Mutungo abaliraanye ekifo ekigenda okuyitamu oluguudo lwa Kampala- Jinja Express Highway basula ku tebuukye olw’ekibangirizi n’ebiyumba ebyalekebwa mu kitundu bye bagamba nti zifuuse empuku z’abamenyi b’amateeka.

Ebifulukwa by'obuyumba ebikweka abamenyi b'amateeka bisattizza ab'e Mutungo
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

Abatuuze b’e Mutungo abaliraanye ekifo ekigenda okuyitamu oluguudo lwa Kampala- Jinja Express Highway basula ku tebuukye olw’ekibangirizi n’ebiyumba ebyalekebwa mu kitundu bye bagamba nti zifuuse empuku z’abamenyi b’amateeka.

 

Balina okutya nti n’ebibangirizi bino byandibaleetera endwadde eziva ku bucaafu olw’abantu okuyiwawo kasasiro ne mu kiro.

 

Fausita Nalukwago, ssentebe wa Mutungo zzooni 9 yagambye nti kasasiro muyitirivu ajjudde mu kitundu kyabwe era yeekubidde enduulu eri abavunaanyizibwa ku kukola oluguudo luno bajje balongoose ekifo kyabwe naye tebannaba kwanukula.

 

Ategezezza nti balina okusomoozebwa kunene kubanga n’abantu okuva mu zooni ezibalinaanye batuusiza wano kasasiro nga n’ebyokwerinda byabwe biri mu matigga olw’ebifulukwa ebyalekebwawo aba UNRA ababbi mwebekweka.

 

Ssentebe wa Mutungo zooni III, Stanley Ssengendo ategeezezza nti kasasiro azza enkulaakulana y’ekitundu kyabwe emabega kubanga buli sente ze bafuna ziggweera mu malwaliro olw’endwadde eziva ku bucaafu.

 

Isa Tabalo, atwala ebyokwerinda mu muluka gw’e Mutungo yategeezezza nti ebyokwerinda mu bitundu byabwe si Birungi naddala mu zzooni 9 era n’ategeeza nti ne mu July battirawo omutuuze.

 

Yayongeddeko nti waliwo akabinja k’abavubuka akatigomya abantu akaali kaakwatibwa ne kavunaanibwa kyokka nga kati baatereddwa nga n’abasinga okubatigomya bali wakati w’emyaka 15 ne 25 mu zzooni 9, 3 ne 12.

 

Kyokka asabye abavunnyizibwa ku kukola oluguudo luno okufaayo ku kifo kyabwe bwe baba tebannatuusa kukikozesa bakisibeko kireme kukweka bamenyi b’amateeka.

 

Amyuka omwogezi wa minisitule y’ebyemirimu n’ebyentambula, Allah Ssempebwa ategeezezza nga enteekateeka z’okukola oluguudo luno bwe zikyagenda mu maaso newankubadde nga pulojekiti tennatandika mu butongole.

 

Ssempebwa ategeezezza nga bwe bali mu nteekateeka okuleeta kontulakita ku kifo w’agenda okukola era balabe nga omulimu gugenda mu maaso.

 

Asabye abatuuze nga bali wamu n’abakulembeze okukola enteekateeka baggye ebifulukwa bino ku kitundu ku lw’ebyokwerinda ebinywevu so si kulinda bulinzi ba minisitule.

 

Tags:
Abamenyi
Bifulukwa
Mutungo