Amawulire

Eyabadde agenze ku mukolo gw'okwanjula bamusse mu ntiisa!

Omuvubuka ow'emyaka 19 eyabadde agenze ku mukolo gw'okwanjula, bazudde omulambo gwe ng'abantu abatannategeerekea bamusse.

Eyabadde agenze ku mukolo gw'okwanjula bamusse mu ntiisa!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuvubuka ow'emyaka 19 eyabadde agenze ku mukolo gw'okwanjula, bazudde omulambo gwe ng'abantu abatannategeerekea bamusse.

 

Abamu ku booluganda lwe n'abatuuze, baalumbye amaka omubadde omukolo gw'okwanjula ne bakuba ssemaka bubi nnyo ne boonoona n'ebimu ku bintu ebyakozeseddwa ku mukolo omuli obutebe, ttivvi, enzigi n'ebirala.

 

Bino, bibadde ku kyalo Kisozi mu muluka gw'e Kisega mu ggombolola y'e Kabaale mu disitulikiti y'e Namutumba, abantu abatannategeerekeka, bwe basse Martin Nicholas Isiko 19, abadde agenze ku mukolo gw'okwanjula mu maka ga Peter Maganda.

 

Kino kiggye abantu be mu mbeera, ne balumba amaka gano ne bakuba Maganda bubi nnyo n'aweebwa ekitanda gy'afunira obujjanjabi ne boonoona n'ebintu mu maka, nga balumiriza okubaako ky'amanyi ku kukuttibwa kw'omuntu waabwe.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti bagguddewo omusango gw'ettemu, n’okulumya omuntu n'okwonoona ebintu era okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Mukolo
Kwanjula
Kutta
Ntiisa