OMUVUBUKA eyali omwejalabi ng’asaasaanya ssente Christine Asiimwe, amanyiddwa nga Don Chris, akwatiddwa poliisi ku misango gy'okunyaga ssente ku Bannayuganda abawerako.
Ono, yakwatiddwa wiiki eno ku Lwokuna okuva mu bbaala emu ewa Zzana ku luguudo lw'e Ntebe ne bamuggalira ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.
Kigambibwa nti obunyazi buno, yabukola wakati w'omwaka 2022 ne 2025 ng'aggya ku bantu ssente ng'abasuubiza okubafunira emirimu e Canada, e Bungereza , Qatar , Dubai n'awalala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti abantu nga 500 abagambibwa okubbibwa, baamala okuggyibwako sitatimenti era nga kisuubirwa nti baasaasulanga ssente wakati w'obukadde 5 ne 10.