Amawulire

Agambibwa okufera Bannayuganda obuwumbi bwa ssente n'adduka ebweru akwatiddwa

OMUVUBUKA eyali omwejalabi ng’asaasaanya ssente Christine Asiimwe, amanyiddwa nga Don Chris, akwatiddwa poliisi ku misango gy'okunyaga ssente ku  Bannayuganda abawerako.

Agambibwa okufera Bannayuganda obuwumbi bwa ssente n'adduka ebweru akwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUVUBUKA eyali omwejalabi ng’asaasaanya ssente Christine Asiimwe, amanyiddwa nga Don Chris, akwatiddwa poliisi ku misango gy'okunyaga ssente ku  Bannayuganda abawerako.

Don Chris nga ye yali ddayirekita wa Sky Pins , yadduka mu ggwanga gye buvuddeko, wakati mu kuduulira abantu b'agambibwa okunyagako ssente eziri mu buwumbi , ng'abasuubiza emirimu ebweru.

Ono, yakwatiddwa wiiki eno ku Lwokuna okuva mu bbaala emu ewa Zzana ku luguudo lw'e Ntebe ne bamuggalira ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Kigambibwa nti obunyazi buno, yabukola wakati w'omwaka 2022 ne 2025 ng'aggya ku bantu ssente ng'abasuubiza okubafunira emirimu e Canada, e Bungereza , Qatar , Dubai n'awalala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti abantu nga 500 abagambibwa okubbibwa, baamala okuggyibwako  sitatimenti era nga kisuubirwa nti baasaasulanga ssente wakati w'obukadde 5 ne 10.

Tags:
Amawulire
Kukwatibwa
Bannayuganda
Buwumbi
Kufera