Shirley Nakyejwe, omukugu mu byakkompyuta bwe yali akula, yeegombanga nnyo okuyiga kkompyuta kyokka nga talina w’agisanga yadde nga yakulira mu Kampala.

Abamu ku bammemba ba YALI Uganda Chapter abaabaddeyo
Olw’obuzibu bwe yafuna, Nakyejwe akolera mu minisitule ya ICT, yasalawo okutandika kaweefube w’okugulira abaana naddala abava mu maka ga bamufunampola kkompyuta basobole okuzikugukamu nga bakyali bato.
Ku ssande nga August 23 ng’ayambibwako banne baatongozza kaweefube w’okugulira essomero lya Shiperoy Primary School kkompyuta 50 gattako okubazimbira labalatole yaazo. Essomero lino lisangibwa Makindye Lusaka mu Kampala era nga lyatandikibwawo omusomesa eyawummula Mable Kalinzi Ssemuju mu 1997 n’ekigendererwa eky’okusomesa abaana ba bamufunampola.
Omukolo gwabadde ku Kevina gardens e Kisaasi nga gwakulembeddwa Anne Munywevu, akulira ekitongole kya bannamwandu ekiyitibwa Naomi Ministries nga kisangibwa mu Namirembe Diocese.
Era waabaddewo ne bammemba ba Young African Leaders Initiative (YALI) Uganda Chapter, abakungu okuva mu minisitule ya ICT ne bannabyanjigiriza okuli kamiisona eyawummula Dr. Charles Tonny Mukasa Lusambu. Bonna awamu baasonze kkompyuta 25 era ne basuubiza okwongera okuwagira essomero okutuuka ku kiruubirwa ky’okuweza kkompyuta 50.
Labalatole eno egenda kuggulibwangawo mu luwummula eri abo bonna abaagala okuyiga kompyuta.