NG’OMWAKA guggwaako, ebikujjuko biba bingi. Ebaayo abategeka emikolo gy’embaga n’okwanjula ate teweerabira nti wabaayo Ssekukkulu n’okumalako omwaka.
Ensonga zaffe wano nga bwe zeekuusa ku by’omukwano, twagadde tusoggole ebirungo, omukyala omufumbo by’oyinza okussa mu laavu yammwe wamma balo n’akwongera ekisanjappakalasiti. Ebimu ku byo, bye bino;
2. Ensiibula y’omwami ng’agenda okukola gisseemu ka ssupu akazito nga mulimu n’akanzaali akasonsomola: Bino ebintu bya bulijjo, naye osanga abakyala batono abasiibula abaami baabwe nga bagenda okukola.
Eriyo abagenda bombi ku mirimu naye nga we baawukanira, tewaba na kagambo ka ‘sswiiti siiba bulungi’. Ggwe abadde takikola, leero kyusaamu, munno muwe ku kafuba ne ka ppeeke tekagaana. Ku luno, omukwano mugusseemu Oluzungu ng’abamu bwe batera okugamba nti ebyo ebintu biba by’Abazungu naye ku luno mubikole.
3. Wuliziganyaako n’omwami wo obutasalako: Mukubire ku kasimu akataliimu kusaba
byetaago era nga tekalina kye kamujjukiza kukola. Mulage nti ye munno ddala, bulijjo n’olubeerera. Wadde ayinza okusooka okulowooza nti olina ky’omubalako, naye bw’anaalaba ng’ovudde ku ssimu nga tolina ky’omusabye ate nga n’olulala okoze bw’otyo, ajja kutegeera nti ddala omuli ku mutima era ajja kukwongera ekisanja.
4. Wezze buggya: Mwambalire buli obugoye obwamukolerana nga yaakakulaba,
weenyirize olabike bulungi ng’ekyokulya. Teri musajja ayagala mukazi alabika bubi.
Naawe siba ku musono gw’enviiri oguliko era wano waliwo abagenda okutandika
okwebuuza nti bwe baba tebabawadde ssente za kusiba nviiri bakole batya?
Wano we tutuuse, ssente y’ekikazi eba erina okuvaayo.
5. Obulabo: Ebirabo bisanyusa era buli muntu gw’owadde ekirabo buli lw’akitunulako akujjukira.
Omwami naawe mujjukizenga nti omufa bitole ng’omutonerayo obulabo kuba era sizoni gye tulimu, ya kutona bulabo ne bwe kaba ka ssente ntono.
6. Weesalire ebimunyumira: Buli omu aba n’omuntu we ng’aliko by’anyumirwa. Munno bw’aba yakugamba ensalira emukolera, mu nnaku zino gy’oba osala newankubadde naawe oyinza okubeerayo n’eyiyo gy’oyogala. Kimanye nti byonna by’okola, okola
kumusanyusa wamma akwongere n’ekisanja aleme kulowooza ku balala.
7. Okutwala omwami wo ‘out’: Omwami wo osobola okumuteekamu ku kasente n’omutwalako ‘out’ ku lunaku olw’enjawulo omwaka gugende okuggwaako wamma nga naye alina olunakulw’abalayo lwe wamuteekamu ku ssente.
8. Entegeka y’ekisengeey’omulembe: Ekisenge kirina okubeera ekiyonjo buli kadde, kifuuyiremu ku buwoowo obw’omulembe n’amataala ssaamu ag’omukwano. Kitegekeko mu ngeri ey’enjawulo, agende okukiyingira ng’alaba ekintu eky’enjawulo.
Obuliri olina okubuwa obudde ng’obutegeka, ssaako amasuuka ag’omulembe aleme kulowooza kuyingira buliri bulala bwonna okuggyako obwo.
9. Ebisoko mu kunyumy akaboozi: Bwe mutuuka mu kisaawe, akazannyo kasseemu obuyiiya n’ebirungo ng’oyita mu kuleetayo ku busitayiro obupya 10. N’ekirala, omwami wo muwengayo akazannyo ng’obudde busaasaana.