Amawulire

Abaakwatibwa ku by'okubba abantu n'ebijambiya e Kajjansi baakuvuunanibwa mu kkooti

Abaakwatiba, kuliko omuvuzi wa bodaboda Derrick Kakooza era nga baamusanga n'ebigambibwa okuba ebimu ku bintu ebyabbibwa.

Abaakwatibwa ku by'okubba abantu n'ebijambiya e Kajjansi baakuvuunanibwa mu kkooti
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu babiri abeebijambiya abagambibwa okuyingirira abatuuze e Kajjansi ne bababba, bakwatiddwa poliisi.

Abaakwatiba, kuliko omuvuzi wa bodaboda Derrick Kakooza era nga baamusanga n'ebigambibwa okuba ebimu ku bintu ebyabbibwa.

Omulala eyakwatibwa, ye John Bosco Mukalasi amanyiddwa nga Ali Junior ono ng'abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera e Kigo gye babadde baamusibira olw'okubbisa eryanyi mu bitundu by'e Kira .

Kigambibwa nti bano nga balina ebijambiya, baayingirira abatuuze e Sekiwunga Cell mu muluka gw'e Kitende e Kajjansi T/C e Wakiso, ne babbako ebintu by'omu nnyumba ne ssente.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, yagambye nti bakuumirwa ku poliisi y'e Nateete ng'okubuuliriza kukolebwa era bwe bategeka okubawereza e Kajjansi bavunaanibwe.

Tags:
Kkooti
Amawulire
Kajjansi
Kukuuma
Kukuumirwa
Kuvunaanibwa