Oludda oluwaabi lwongedde okuleeta obujulizi bw’obutambi obwakwatibwa omuzungu mu musango gwa Besigye okutta Museveni kyokka bwalaze nga bwakwatibwa mu 2020 wadde ng’omuzungu agamba baasisinkana mu 2024.

Ekimu ku bifaananyi ebyavudde mu vidiyo omuzungu bwe yalaze
Wilson agambye nti baasisinkana nga January 28, 2024 kyokka obutambi bw’ebifaananyi obwazannyiddwa mu kkooti bwalaze nga bwakwatibwa nga May 24, 2020 ekyalese abantu ba bawawaabirwa baabaddewo nga beewuunya ekigenda mu maaso.
Mu lukiiko baateesa ku ngeri gye bayinza okuttamu Museveni ate olukongoolo luleme kuteekebwa ku Besigye wabula banenyemu aba ADF, era bateese okutega bbomu mu yingini y’ennyonyi etambuza abalambuzi olwo bw’etulika Besigye akozese emikutu gya mawulire okuvumiria gavumenti ya Museveni.