Amawulire

Omuzungu alumiriza Besigye okwagala okutta Museveni aleese obutambi obulala

Oludda oluwaabi lwongedde okuleeta obujulizi bw’obutambi obwakwatibwa omuzungu mu musango gwa Besigye okutta Museveni kyokka bwalaze nga bwakwatibwa mu 2020 wadde ng’omuzungu agamba baasisinkana mu 2024.

Omuzungu alumiriza Besigye okwagala okutta Museveni aleese obutambi obulala
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Oludda oluwaabi lwongedde okuleeta obujulizi bw’obutambi obwakwatibwa omuzungu mu musango gwa Besigye okutta Museveni kyokka bwalaze nga bwakwatibwa mu 2020 wadde ng’omuzungu agamba baasisinkana mu 2024.

Ekimu ku bifaananyi ebyavudde mu vidiyo omuzungu bwe yalaze

Ekimu ku bifaananyi ebyavudde mu vidiyo omuzungu bwe yalaze

Omuzungu Andrew Wilson nga ye mujulizi w’oludda oluwaabi asooka mu misango gya Dr Kizza Besigye ne banne aleese obutambi obulala bw’agamba nti yabukwata bwe yali asisinkanye Dr Besigye ne Joel Wakayima omulundi ogw’okubiri e Geneva.

Wilson agambye nti baasisinkana nga January 28, 2024 kyokka obutambi bw’ebifaananyi obwazannyiddwa mu kkooti bwalaze nga bwakwatibwa nga May 24, 2020 ekyalese abantu ba bawawaabirwa baabaddewo nga beewuunya ekigenda mu maaso.

Mu lukiiko baateesa ku ngeri gye bayinza okuttamu Museveni ate olukongoolo luleme kuteekebwa ku Besigye wabula banenyemu  aba ADF, era bateese okutega bbomu mu yingini y’ennyonyi etambuza abalambuzi olwo bw’etulika Besigye akozese emikutu gya mawulire okuvumiria gavumenti ya Museveni.

Tags:
Amawulire
Pulezidenti Museveni
Besigye
Musango
Muzungu