Amawulire

Poliisi ezudde bbebi owa wiiki essatu gwe baabadde babbye ku nnyina

Omwana omuwala owa wiiki essatu eyabadde abbiddwa okuva ku nnyina, poliisi emuzudde. 

Poliisi ezudde bbebi owa wiiki essatu gwe baabadde babbye ku nnyina
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omwana omuwala owa wiiki essatu eyabadde abbiddwa okuva ku nnyina, poliisi emuzudde.

 

Omwana ono Sherina Namulwa, yabbiddwa okuva ku nnyina Suzan Mirembe okuva ku kyalo Namulu mu ggombolola y'e Kizuba mu disitulikiti y'e Namutumba nga August 21,2026.

Maama gwe baabadde babbyeko omwana.

Maama gwe baabadde babbyeko omwana.

Kigambibwa nti eyamubbye, yasoose kwefuula ng'omuntu eyabadde talina ssente zimwongerayo gy'agenda era Mirembe n'akkiriza okumusuza asobole okweyongerayo enkeera.

 

Kitegeezeddwa nti enkeera, ono , yabuzeewo n'omwana era omusango ne baguggulawo ku poliisi y'e Namutumba, eyatandikiddewo okuyigga omubbi , n'okuzuula omwana.

 

Omwana ono, azuuliddwa nga bamukwese ku kyalo Kisiro mu ggombolola y'e Bugobi era agambibwa okumubba naye ne bamukwata.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti omwana asangiddwa mu mbeera nnungi era n'addizibwa bazadde be. Omusibe wakutwalibwa mu kkooti ekiseera kyonna.

Tags:
Wiiki
Poliisi
Kuzuula
Bbebi
Ssatu