Omwana omuwala owa wiiki essatu eyabadde abbiddwa okuva ku nnyina, poliisi emuzudde.

Maama gwe baabadde babbyeko omwana.
Kigambibwa nti eyamubbye, yasoose kwefuula ng'omuntu eyabadde talina ssente zimwongerayo gy'agenda era Mirembe n'akkiriza okumusuza asobole okweyongerayo enkeera.
Kitegeezeddwa nti enkeera, ono , yabuzeewo n'omwana era omusango ne baguggulawo ku poliisi y'e Namutumba, eyatandikiddewo okuyigga omubbi , n'okuzuula omwana.
Omwana ono, azuuliddwa nga bamukwese ku kyalo Kisiro mu ggombolola y'e Bugobi era agambibwa okumubba naye ne bamukwata.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti omwana asangiddwa mu mbeera nnungi era n'addizibwa bazadde be. Omusibe wakutwalibwa mu kkooti ekiseera kyonna.