Amawulire

Kazambi akulukutira mu nguudo z'e Kawempe abuzeeko ayamba!

KAZAMBI  akulukutira ku nguudo z’omu Kawempe atabudde abatuuze n’abasuubuzi ne basaba be kikwatako okusitukiramu.

Kazambi akulukutira mu nguudo z'e Kawempe abuzeeko ayamba!
By: Moses Lemisa, Journalist @New Vision

KAZAMBI  akulukutira ku nguudo z’omu Kawempe atabudde abatuuze n’abasuubuzi ne basaba be kikwatako okusitukiramu.

 

Bassentebe balumirizza abakozi  b’ekitongole ky’amazzi okubasaba ssente okusobola okutereeza emidumu egiba gibomose.

Kazambi akulukutira ku kkubo

Kazambi akulukutira ku kkubo

Mu minisipaali y’e Kawempe  kizibu okumalako wiiki nga tewali  midumu gya kazambi gibomose  nga be kikwatako baagambye nti kye baayiga kugenda kulambulawo ne bakuba ebifaananyi oluvunnyuma ne bagenda nga tebalina kye bakozeewo olwo ne bamala ebbanga okudda ate bwe babayamba ne batereeza ekizibu mu bbanga ttono kiba kizzeemu.

 

Kigongo Mutaasa ssentebe wa Keeti Falawo yagambye nti  ab’ekitongole ky’amazzi balwako okujja okutereeza emidumu egiba gibbomose  ng’abamu ku bakozi bamanyi n’okusabayo ssente okusobola okutereeza kazambi kye yagambye nti baba tebazirina  .

Kazambi eyakulutidde mu maaso ga bizinensi emu e Kawempe.

Kazambi eyakulutidde mu maaso ga bizinensi emu e Kawempe.

Omumyuka wa mmeeya e Kawempe Joseph Kibuga yagambye nti kituufu ensonga ya kazambi akulukutira mu  nguudo z’omu Kawempe bagimaanyiko ng’era abakulembeze bagenda kutuula basale amagezi okulaba ng’egonjoolwa.

 

Ssentebe wa Kikuubo zzooni  Mpereerwe, Lawrence  Bakirabye yagambye nti ngy’oggyeeko kazambi w’emidumu balina abatuuze abaazimba okumpi n’emyala nabo bakoze kinene okuzibukulira kazambi mu myala ekintu eky’obulabe eri obulamu bw’abalalala nga kisoboola okubaviirako okufuna ebirwadde ebiva ku bucaafu.

 

 

 

 

 .

Tags:
Kawempe
Nguudo
Kazambi
Kuyamba
Kukulukuta