Amawulire

Abaana 2 abaasimattuse ebiso ebyabafumitiddwa nnyaabwe abazaala basiibuddwa

A BAANA babiri ku abo abasatu abaafumitiddwa maama waabwe ebiso e Bbunga basiibuddwa. Ekikangabwa kino, kyabaddewo wiiki ewedde e Bbunga Ggaba mu Kampala, omukazi Omunnakenya Dorothy Namayo 43, bwe yasse abaana babiri n'okulumya abasatu naye ne yeefumita ne baweebwa e bitanda e Mulago.

Abaana 2 abaasimattuse ebiso ebyabafumitiddwa nnyaabwe abazaala basiibuddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAANA babiri ku abo abasatu abaafumitiddwa maama waabwe ebiso e Bbunga basiibuddwa.

 

Ekikangabwa kino, kyabaddewo wiiki ewedde e Bbunga Ggaba mu Kampala, omukazi Omunnakenya Dorothy Namayo 43, bwe yasse abaana babiri n'okulumya abasatu naye ne yeefumita ne baweebwa e bitanda e Mulago.

 

Ku basatu, ababiri basiibuddwa, omu akyafuna obujjanjabi awamu ne maama we era nga bamaze okuggyibwako sitatimenti ne bba.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti, bagenze bakuba ku matu era nga bingi poliisi by'efunye ku ttemu lino.

 

Agasseeko nti basobodde okufuna entambi za kkamera n'okuggya sitaatimenti ku baaliwo n'okuwulira era nga n'omukyala, bino byonna abyesigamya ku butabanguko ku maka omuli embiranye gy'abaddeko ne bbaawe.

Tags:
Abaana
Maama
Biso
Kufumita
Kuzaala
Kusiibulwa