Amawulire

Ssaabadinkoni avumiridde engeri eweebuula abakulira amasomero ga gavumenti gye bakwatibwamu

SSAABADDINKONI w’e Kazo Venerable Canon Emmanuel Ssewanyana atabukidde gavumenti olw’ebikwekweto by’ekola okukwata abakulira amasomero ga gavumenti naddala agali ku musingi gw’ekkanisa nga babalanga okusasuza abaana fiizi ky’agamba nti si kyabwenkanya.

Ssaabadinkoni avumiridde engeri eweebuula abakulira amasomero ga gavumenti gye bakwatibwamu
By: Steven Kiragga, Journalist @New Vision

SSAABADDINKONI w’e Kazo Venerable Canon Emmanuel Ssewanyana atabukidde gavumenti olw’ebikwekweto by’ekola okukwata abakulira amasomero ga gavumenti naddala agali ku musingi gw’ekkanisa nga babalanga okusasuza abaana fiizi ky’agamba nti si kyabwenkanya.

Bino Ssaabaddinkoni abyogedde mu Balaza etuuziddwa e Jinja Kalooli mu diviizoni y’e Nabweru n’avumirira engeri abakulira amasomero gye bakwatibwamu n’asaba wabeewo okuteeseganya wakati wa gavumenti ne kkanisa kuba ebiragiro ebimu biva ku bukiiko obutwala essomero okulaba ng’abaana basasulayo aka ssente okufuna ekyokulya.

Ssewanyana era avumiridde engeri eweebula abakulira amasomero gye bakwatibwamu n’asaba kino kikyusibwe kuba kisiiga ekifaananyi ekibi eri abaana.

Ye RDC wa Nansana, Charles Lwanga wano w’asinzidde n’akinogaanya nga bwe batagenda kuttira ku muntu yenna ku liiso asasuza abaana mu masomero ga gavumenti nti yenna anaakwatibwa waakuvunanibwa.

Ate minista w’ensonga  za Kampala, Hajjati Minsa Kabanda wano wajjukiriza abazadde okutwala obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana nga babafunira ekyokulya.

Bo abatuuze nga bakulembeddwa Mmande Lawrence basiimye balaza eno kyokka n’abasaba okuteekesa mu nkola ebiragiro by’okulondoola pulojekiti za gavumenti ne yennyamira olw’obutaweebwa mukisa kwogera bibaluma nga abatuuze.

Tags:
Masomero
Kuweebuula
Ssaabadinkoni
Kukwata
Kukulira