Abakulu b’amasomero ga Gavumenti basatu mu disitulikiti y'e Malacha bakwatiddwa abaserikale b'akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit ku biragiro bya Minisita Balaam Barugahara ku bigambibwa nti baawandiisa abayizi ab'empewo n'okusasuza abayizi ssente ezitakkirizibwa mu mateeka.
Okusinziira ku Balaam, abakulu b'amasomero bano baayingiza abayizi ab'empewo mu masomero ga gavumenti n'abamu nti abasuza ssente nnyingi mu masomero ga gavumenti! Abakwatwe baatwaliddwa ku poliisi y'e Malacha bannyonnyole.