Abantu babiri abeebijambiya abagambibwa okuyingirira abatuuze e Kajjansi ne bababba, bakwatiddwa poliisi.
Omulala eyakwatibwa, ye John Bosco Mukalasi amanyiddwa nga Ali Junior ono ng'abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera e Kigo gye babadde baamusibira olw'okubbisa eryanyi mu bitundu by'e Kira .
Kigambibwa nti bano nga balina ebijambiya, baayingirira abatuuze e Sekiwunga Cell mu muluka gw'e Kitende e Kajjansi T/C e Wakiso, ne babbako ebintu by'omu nnyumba ne ssente.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, yagambye nti bakuumirwa ku poliisi y'e Nateete ng'okubuuliriza kukolebwa era bwe bategeka okubawereza e Kajjansi bavunaanibwe.