Amawulire

Bannamawulire mwagazise abantu bemukolera enteekateeka za Gavumenti

EBITONGOLE bya mawulire bikubiriziddwa okukolagana ne Gavumenti nga bimanyisa abantu ku nteekateeka yaazo naddala ezikwata ku bakyala okusobola okwekulaakulanya

Abamu ku bannamawulire abegattira mu kitongole kya UMWA nga basala keeki okujaguza emyaka 25.p
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

EBITONGOLE bya mawulire bikubiriziddwa okukolagana ne Gavumenti nga bimanyisa abantu ku nteekateeka yaazo naddala ezikwata ku bakyala okusobola okwekulaakulanya

Byategeezeddwa ssentebe w’ekitongole kya Equal opportunities Uganda Hajjati Safia Nalule Jjuuko eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’abakyala bannamawulire abegattira mu kitongole kya Uganda Media Women Association (UMWA) ogw’okumala emyaka 25 mu buweereza

Ssentebe W'ekitongole Kya Equal Opportunities Commission Hajjati Safia Nalule Jjuuko Nga Ayogera

Ssentebe W'ekitongole Kya Equal Opportunities Commission Hajjati Safia Nalule Jjuuko Nga Ayogera

Bino bize olw’ekitongole kya UMWA okulaga omuwendo gwa bakyala mu mawulire okubeera abatono bwogerageranya ku basajja

Okusinziira ku kunonyereza okwakolebwa ekitongole kya UMWA kulaga nti abakyala ebitundu 23 ku 100 boka bebali mu mawulire bwogerageranya n’abasajja ebitundu 77 nga n’ekitongole kya Global Media Monitoring Project kyalaga nti omuwendo gw’abakyala mu mawulire gwongera kuka

Magret Ssentamu omu ku batandisi b’ekitongole kya UMWA ategeezeza nti betaaga okuyambibwako Gavumenti, ebitongole by'amawulire, amattendekero g’abamawulire n’abakwatibwako bona okuziba edibu lya bakyala abatono mu mawulire

Sylvia Biraahwa(okuva Ku Kono), Magret Ssentamu (ow'okubiri Ku Kono), Anita Mago, Jennipher Kalule (ku Ddyo) Abamu Ku Batandisi B'ekitongole Kya

Sylvia Biraahwa(okuva Ku Kono), Magret Ssentamu (ow'okubiri Ku Kono), Anita Mago, Jennipher Kalule (ku Ddyo) Abamu Ku Batandisi B'ekitongole Kya

Yasabye Gavumenti okuleeta n’okugumya amateeka agatumbula abakyala abali mu mawulire era nakubiriza amattendekero g’abamawulire okwongera okuyingiza abakyala abasoma amawulire okusobola  okutuusa eddoboozi lya bakyala banabwe, okulwanirira eddembe lyaabwe n’okwongera abakyala abeetaba mu nsonga z’eggwanga

Omukolo omukulu ogw’ebijaguzo gwakubeerawo nga October 10 omwaka guno okujaguza emyaka 25 nga baweereza mu mawulire

Ssentamu yategeezeza nti tebakoma kujaguza birungi byebatuseeko wabula okufumintiriza ku kusomozebwa kwebasanze mu lugendo lwaabwe 

Tags:
UMWA
Gavumenti
Equal opportunities Uganda
Hajjati Safia Nalule