EBITONGOLE bya mawulire bikubiriziddwa okukolagana ne Gavumenti nga bimanyisa abantu ku nteekateeka yaazo naddala ezikwata ku bakyala okusobola okwekulaakulanya
Byategeezeddwa ssentebe w’ekitongole kya Equal opportunities Uganda Hajjati Safia Nalule Jjuuko eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’abakyala bannamawulire abegattira mu kitongole kya Uganda Media Women Association (UMWA) ogw’okumala emyaka 25 mu buweereza

Ssentebe W'ekitongole Kya Equal Opportunities Commission Hajjati Safia Nalule Jjuuko Nga Ayogera
Bino bize olw’ekitongole kya UMWA okulaga omuwendo gwa bakyala mu mawulire okubeera abatono bwogerageranya ku basajja
Okusinziira ku kunonyereza okwakolebwa ekitongole kya UMWA kulaga nti abakyala ebitundu 23 ku 100 boka bebali mu mawulire bwogerageranya n’abasajja ebitundu 77 nga n’ekitongole kya Global Media Monitoring Project kyalaga nti omuwendo gw’abakyala mu mawulire gwongera kuka

Sylvia Biraahwa(okuva Ku Kono), Magret Ssentamu (ow'okubiri Ku Kono), Anita Mago, Jennipher Kalule (ku Ddyo) Abamu Ku Batandisi B'ekitongole Kya
Yasabye Gavumenti okuleeta n’okugumya amateeka agatumbula abakyala abali mu mawulire era nakubiriza amattendekero g’abamawulire okwongera okuyingiza abakyala abasoma amawulire okusobola okutuusa eddoboozi lya bakyala banabwe, okulwanirira eddembe lyaabwe n’okwongera abakyala abeetaba mu nsonga z’eggwanga
Omukolo omukulu ogw’ebijaguzo gwakubeerawo nga October 10 omwaka guno okujaguza emyaka 25 nga baweereza mu mawulire
Ssentamu yategeezeza nti tebakoma kujaguza birungi byebatuseeko wabula okufumintiriza ku kusomozebwa kwebasanze mu lugendo lwaabwe