Amawulire

Kkooti eyongezzaayo okuwulira omusango gw'okubba amabaati g'e Karamoja

Eyali minisita w’e Karamoja, Mary Gorret Kitutu abadde alabiseeko olwaleero mu maaso g’omulamuzi David Makumbi okuddamu okuwulira emisango egimuvunaanibwa wamu ne mwannyina Micheal Naboya ssaako Joshua Abaho eyali omuwandiisi mu ofiisi ya ssaabaminisita.

Kkooti eyongezzaayo okuwulira omusango gw'okubba amabaati g'e Karamoja
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

KKOOTI enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi e Wandegeya eyongezzaayo okuwulira omusango gw’okubba amabaati oguvunabibwa eyali minista w’ensonga z’e Karamoja.

Eyali minisita w’e Karamoja, Mary Gorret Kitutu abadde alabiseeko olwaleero mu maaso g’omulamuzi David Makumbi okuddamu okuwulira emisango egimuvunaanibwa wamu ne mwannyina Micheal Naboya ssaako Joshua Abaho eyali omuwandiisi mu ofiisi ya ssaabaminisita.

Omusango guno gwali gwayimirizibwa oluvannyuma lwa Kitutu okuddukira mu kkooti ejulirwamu ng’agamba waaliwo okulinnyirira eddembe bwe yali akwatibwa ssaako okutulugunyizibwa kyokka kkooti n’ebigoba ng’egamba ebyo tebiremesa muntu kuvunaanibwa n’agenda atyo ng’ate yaggulwako emisango oluusi egiriko n’obujulizi.

Bano bavunaanibwa okwezza ebintu bya gavumenti nga gano gaali mabaaati 9000 agaalina okuweebwa abawejjere e Karamoja.

Abantu abenjawulo bakwatibwa ku nsonga eyo era eyali minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja Agnes Nandutu yasibwa emyaka etaano oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango kyokka abalala abaakwatiddwa  pulezidenti Museveni n’abasonyiwa era ne baggyibwako emisango.

Omulamuzi Makumbi omusango agwongezzaayo okutuusa nga October 12, 2026 ng’oludda oluwaabi lwakuwa abawawaabirwa obujulizi bwe basuubira okwesigamako olwo okuwulira abajulizi kutandike.

Kitutu abadde mu kkooti ne Abaho ate Naboya talabiseeko.

Tags:
Kkooti
Mawulire
Musango
Kwongezaayo
Karamoja
Minisita