Amawulire

Abannakenya abaayingira Uganda mu bukyamu nga beekweka emisango balagiddwa okuddayo

KKOOTI eragidde bannansi ba Kenya abaayingira Uganda mu bukyamu baddizibwe mangu ewaabwe.

Abannakenya abaayingira Uganda mu bukyamu nga beekweka emisango balagiddwa okuddayo
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

KKOOTI eragidde bannansi ba Kenya abaayingira Uganda mu bukyamu baddizibwe mangu ewaabwe.

Abannakenya kkooti be yalagidde baddizibwe ewaabwe.

Abannakenya kkooti be yalagidde baddizibwe ewaabwe.

Omulamuzi Nicholas Aisu owa kkooti ya City Hall alagidde Collins Bett Kiplangat 32 omuserikale ku poliisi ya Kikuyu Police, Pius Mwiru Mbunga 27 ne, Samuel Karanja 29 bazzibweyo bavunaanibwe emisango gy'obutemu egyabaggulwako e Kenya.

Bano beesogga Uganda nga bayita e Busia oluvannyuma lw'ebigambibwa nti batta Dr Musito e Kenya.

Tags:
Amawulire
Kkooti
Bannakenya
Poliisi
Kukwata