Amawulire

Poliisi y'e Iganga ekutte omuvubuka agambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente

Ente bbiri ezigambibwa okuba enzibe , nazo zizuuliddwa mu kikwekweto kino ekikoleddwa ku kyalo Bukokola Bubenge B mu ggombolola y'e Igombe mu disitulikiti y’e Bugweri era nga babadde bategeka kuzitunda mu katale k'e Nambale.

Poliisi y'e Iganga ekutte omuvubuka agambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omu ku bagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente e Bugweri akwatiddwa poliisi e Iganga.

Emu ku nte egambibwa okuba enzibe

Emu ku nte egambibwa okuba enzibe

Ente bbiri ezigambibwa okuba enzibe , nazo zizuuliddwa mu kikwekweto kino ekikoleddwa ku kyalo Bukokola Bubenge B mu ggombolola y'e Igombe mu disitulikiti y’e Bugweri era nga babadde bategeka kuzitunda mu katale k'e Nambale.

Fahad Magumba Balaza 25, omutuuze w'e Nabitovu mu muluka gw'e Mwira mu ggombolola y'e Nambale e Iganga, y'akwatiddwa n'ente bbiri ezigambibwa nti yazibbye okuva eri abooluganda lwe e Bukokola Bubenge B.

Ente eyookubiri egambibwa okuba enzibe

Ente eyookubiri egambibwa okuba enzibe

Kigambibwa yazibbye ku Tebenenia Namuyindi ne Kigali Banuli nga ba kukyalo kimu era bombi abalinako oluganda.

Omwogezi wa poliisi e Busiga East, Micheal Kasadha, agambye nti omusibe n'ente, bikuumibwa ku poliisi e Iganga ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Nte
Poliisi
Iganga
Kukwata
Kukwatibwa