Amawulire

Banna Kampala baakufuma ebbula ly'amazzi eribadde libakaabya akayirigombe

Ab’ekitongole kya mazzi ekya National Water and Sewerage Corperation  baggumiza abantu abali mu bitundu bya Kampala n'emiriraano nga bwebagenda okumalawo ebbula lya mazzi mu bitundu byaabwe, bongedde okuzimba ttanka za mazzi okubagabirira.

Omulimu gw'okuzimba Ttanka z'amazzi kugenda mu maaso
By: Bya EDWARD LUYIMBAAZI, Journalist @New Vision

Ab’ekitongole kya mazzi ekya National Water and Sewerage Corperation  baggumiza abantu abali mu bitundu bya Kampala n'emiriraano nga bwebagenda okumalawo ebbula lya mazzi mu bitundu byaabwe, bongedde okuzimba ttanka za mazzi okubagabirira.

Nga balambula awazimbibwa ttanka z'amazzi

Nga balambula awazimbibwa ttanka z'amazzi

Bino byayogeddwa akulira ekitongole kya National Water Eng.Silver Mugisha bwabade akulembedemu abakungu okuva mu kitongole ekyo okulambula Ttanka za mazzi ezizimbibwa mu bitundu bye Kabulengwa,Kanyanya,Kungu ne Butuukirwa okulaba engeri omulimu gwokuzimba ttanka zino wegutuuse.

Yinginiya nga nnyonnyola omulimu w'egutuuse

Yinginiya nga nnyonnyola omulimu w'egutuuse

 Eng.Mugisha yagambye nti abantu ababeera mu bitundu ebiriranye Kampala balina ekizibu kye bbula lya mazzi naye kati beewadeeyo okulaba nga bamalawo ekizibu kino era  bazimbye ttanka za mazzi e Kabulengwa,Kanyanya,Mutungo ne Kungu nga bwebazirambudde baasanze omulimu gutambula bulungi nga gukolebwa kampuni ya Sogea Satom nga baagala mu mwezi gwa July,2027 n’omulimu guno guwedde.
Tags:
National Water and Sewerage Corperation

Emboozi Ezifanagana