Emmotoka ekika kya Toyota Rumion nnamba UBM 037 E, egambibwa okubbibwa, poliisi egizudde e Kasawo Mukono, nga waliwo agambibwa okugipangisa abantu ku 100,000/ buli lunaku.
Poliisi e Ntebe, yasoose kukwata Patrick Mubiru agambibwa nti yabadde alabiddwako ng'avuga emmotoka eyo era oluvannyuma n'akkiriza nga bwe yabadde agipangisizza Sowali Kiiza era ne bamukwata nayo e Kasawo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti bombi, bakuumirwa ku Poliisi e Ntebe ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso