Amawulire

Don Chris bamusindise Luzira okutuusa nga September 21

Asiimwe yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu ku kkooti ya Cityhall mu Kampala n’asomerwa emisango 127 egy'okutwala ssente ezissuka mu buwumbi obusatu okuva ku bantu nga abasuubizza okubafunira emirimu ebweru w'eggwanga okukuba ekyeyo.

Don Chris bamusindise Luzira okutuusa nga September 21
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

NANNYINI skypins tours and travels Christian Asiimwe 32, amanyiddwa nga Don Chris asindikiddwa ku limanda okutuusa nga September 21, omusango lwe gunaakomawo okuwulirwa mu kkooti.

Don Chris mu kagulu ka kkooti eggulo

Don Chris mu kagulu ka kkooti eggulo

Asiimwe yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu ku kkooti ya Cityhall mu Kampala n’asomerwa emisango 127 egy'okutwala ssente ezissuka mu buwumbi obusatu okuva ku bantu nga abasuubizza okubafunira emirimu ebweru w'eggwanga okukuba ekyeyo.

Kigambibwa nti wakati wa 2023 ne 2024 Asiimwe n'abalala abakyanoonyezebwa yeefuula kyatali n’afuna ssente mu lukujjukujju okuva ku bantu 127 ng’abasuubizza okubatwala ebweru okubawa emirimu.

Chris nga bamutuusa ku kkooti okuva ku CPS gye yasoose okutwalibwa.

Chris nga bamutuusa ku kkooti okuva ku CPS gye yasoose okutwalibwa.

Asomeddwa emisango gino 127 wabula gyonna agyegaanye. Kigambibwa nti wakati wa 2023 ne 2024 e Ntinda mu diviizoni y'e Nakawa yafuna obukadde 5 n’emitwalo 20 okuva ku Dominic Mpagi ng’amusuubizza okugenda e Canada okumufunira omulimu.

Omulala Oscar Kiconco amulumiriza okumutwalako obukadde 5 ng’amusuubiza okumutwala e Canada. Abalala abalumiriza omukama kuliko Sharon Ndagire eyamuwa obukadde 4 n’ekitundu ng’amusuubizza okumutwala e Canada, Ruth Nakibuuuka gwe yaggyako obukadde 5 n’emitwalo 20, Jude Luwaga gwe yaggyako obukadde 5 n’ekitundu bonna kugenda n’abalala bangi.

Abawaabi ba gavumenti okuli Grace Miriam Akite ne Mercy Khaidara Yamangusho baategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku misango gino gyonna kwaggwa ne basaba omulamuzi abawe olunaku okuwuliriza emisango gino. Omulamuzi Nicholas Aisu abawadde September 21, 2026 okuwulira emisango gino.

Tags:
Amawulire
DOn chris
Misango
September