Amawulire

Omusawo eyeekebejja abavubuka mu gw'okulebula Pr. Kayanja aleese bwino atiisa!

OMUSAWO wa Poliisi okuva ku ttendekero lya Poliisi e Kabalye, Phenehansi Bwambale 44, eyakebera abuvubuka abagambibwa okukolebwako ebikolwa by'ekikujju Omusumba w'ekkanisa ya Miracle Center Lubaga, Robert Kayanja awadde obujulizi obuwuniikirizza kkooti 

Omusawo eyeekebejja abavubuka mu gw'okulebula Pr. Kayanja aleese bwino atiisa!
By: Peter Ssuuna, Journalist @New Vision

OMUSAWO wa Poliisi okuva ku ttendekero lya Poliisi e Kabalye, Phenehansi Bwambale 44, eyakebera abuvubuka abagambibwa okukolebwako ebikolwa by'ekikujju Omusumba w'ekkanisa ya Miracle Center Lubaga, Robert Kayanja awadde obujulizi obuwuniikirizza kkooti 

 

Mu kkooti y'Omulamuzi Adams Byarugaba eya Nateete Lubaga e Mengo, Bwambale eyawadde obujulizi ku ludda lw'abavubuka bano, ng'akulembeddwa munnamateeka Bernard Mugenyi, yeeyogeddeko ng’eyakuguka mu by’okwekebejja emibiri gy’abantu kw’alinamu ddiguli bbiri.

Abawawaabirwa mu kaguli ka kkooti.

Abawawaabirwa mu kaguli ka kkooti.

Yayongedde nti alina obumanyirivu bwa myaka etaano kwossa okubeera omusawo w’amannyo. 

 

Yagambye nti, mu kwekebejja abavubuka bano, yasanga ababiri ku bo okuli Peter Sserugo ne Alex Wakamala nga balina obuzibu mu ggumba ly'akabina lye yayise (tail bone) nga kirowoozebwa nti waliwo ekyabatuukako.

 

Bwambale ategeezezza nti kiyinzika okuba nga kyava ku bintu okuba nga byabakosa. Ono era agamba nti bano yabasanga n'enkovu eziwona.

 

Yannyonnyodde nti kino kisoboka okuba nga kyava ku bintu ebitali bya bulijjo ebyabakosa okugeza oba nga yinfekisoni, oba ekintu okubayingira okuva ebweru we bafulumira obucaafu.

 

Yagambye nti bano baalina obulumi era n'abawa amagezi okukeberebwa okwenjawulo nga bakozesa ka ttivvi (X-ray).

 

Ono era yagambye nti abavubuka baayawulwamu ebibinja bisatu okwali be yakeberera mu ddwaliro lya Poliisi e Nsambya n'abo abali mu kkomera e Masindi.

 

Abalala abaakeberebwa, Reagan Ssentongo, Moses Tumwine, Martin Kagolo, baasangibwa balamu bulungi ng'awafulumira obubi watereevu teri kyali kitaataganyiziddwawo okuggyako Labeeb Kalifah eyagaana okumukebera ng'agamba asooka kuva mu kkomera gye yali e Masindi.

 

Omusawo era yategeezezza nti abavubuka bonna be yakebera, baamugamba ebintu ebifaanagana okwali okwogera nti bwe baali batuusibwako ebikolwa bino omusumba Kayanja yali akozesa obupiira bu kalimpitawa n'ebizigo mbu era ng'alina n'enkovu ku ludda lw'omugongo gye yayise (keloid).

 

Era yagambye nti bino bwe yabigattagatta, yakiraba ng'abavubuka bano boogera ebintu ebifaanagana okwo kwe yasinziira okugamba nti baali ku mazima.

 

Mu kubuuzibwa ebibuuzo omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya, bwe yamusabye okuggumiza oba ddala by'ayogedde ku Wakamala ne Sserugo byava ku kutuusibwako bikolwa bya kikukujju n'agamba nti tasobola kukikakasa.

 

Ono era agamba n'ekiseera abavubuka kye baamugamba nti baatuusibwako ebikolwa bino tekiggyaayo butereevu kunoonyereza kugguka kuba ekyo kyalikoleddwa nga waakiri waakayitawo essaawa 8:00 zokka nga baakakosebwa okufuna ekituufu naye ekitali ekyo, tewali bujulizi bw'asobola kufuna bwekuusa ku bikolwa ebyo.

 

Omuwaabi wa Gavumenti era yamugugumbudde nti omusawo omutendeke ayinza atya okwesigama ku bigambo obugambo abavubuka bye baamugamba n'akola okusalawo wabula ng'omusumba ayogerwako takebeddwa kuzuula oba ebimwogerwako bituufu.

 

Yamwanukudde nti ye ng'omusawo, bw'aba akola ku balwadde, ebiseera ebisinga yeesigama ku bimugambiddwa ebitundu 75 ku 100 ebirala n'abikebera mu nkola y'ekikugu.

 

Abawawaabirwa mwenda okuli Reagan Ssentongo, Peter Sserugo, Alex Wakamala, Labeeb Kalifah, Moses Tumwine, Martin Kagolo, Agrey Kanene, Israel Wasswa ne Jamir Mwanda bavunaanibwa ogw’okulumba ekkanisa y’omusumba Kayanja nga September 17, 2021 ne bamwogerako nti bamubanja ssente ze yabatuusizaako ebikolwa by’ekikukujju ekigambibwa nti si kituufu.

 

Omusango gwongezeddwayo okutuusa nga October 1, 2026 guddemu okuwulirwa.

 

Tags:
Pr Kayanja
Bwino
Musawo
Kkooti