Amawulire

Wavamuno atutte mugandawe mu kkooti lwa nnyumba

OMUGAGGA Polof. Gordon Wavamuno atutte muganda we, Johnson Wavamuno Kamya mu kkooti ng’amulanga kweremeza mu nnyumba ye gye yamuwa okubeeramu nga bwe yeeyiiya mu kibuga.

Ennyumba Wavamunno gy'akaayanira
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUGAGGA Polof. Gordon Wavamuno atutte muganda we, Johnson Wavamuno Kamya mu kkooti ng’amulanga kweremeza mu nnyumba ye gye yamuwa okubeeramu nga bwe yeeyiiya mu kibuga.
Ennyumba eriko enkaayana esangibwa Kabowa mu Kampala, ku Block 11 Plot 305.Okusinziira ku mpapula za kkooti, ekyapa ky’ettaka okutudde ennyumba eno kiri mu mannya g’omugagga Wavamuno.

Mu musango guno, Wavamuno yayise mu bantu be yawa obuyinza okukola emirimu ku lulwe, okuli Ssekyanzi Wavamuno, Elvis Simpson ne Gilbert Wavamuno. Omusango baaguloopa nga July 1,2026.
BYATANDIKA BITYA?
Wavamuno agamba nti, Kamya bwe yava mu kkomera e Luzira, yamuwa ennyumba eno asulemu nga bwe yeetereeza, era nti Kamya yali tamusasuza za bupangisa wadde emisoso emirala gyonna.
Wabula bwe yali agimuwa bakkaanya nti w’anaagimusabira akoleremu ebibye, Kamya yali tajja kuwalira okuggyako okufuluma obufulumi, kubanga tewaali ndagaano ya kumuguza, oba okumuwa liizi era nga talina kakwate konna ka bwannannyini.
Bwe yatuuka nga yeetaaga ennyumba ye, empapula za kkooti ziraga nti Kamya yakkiriza okufuluma okusinziira ku bbaluwa gye yawandiika nga November 15, 2023 ng’akakasa nti talina bwannannyini ku nnyumba eno.
Mu bbaluwa eno, yasaba okuweebwa emyezi mukaaga ku mwenda, fune w’adda. Wabula Wavamuno agamba nti ebbanga lino lyaggwaako nga August 15, 2024, kyokka
Kamya akyagaanyi okuvaamu.
Empapula era ziraga nti, nga February 10, 2025, Kamya yaleeta ekiteeso eky’okugula ennyumba eno ku bukadde 750 okusinga okugivaamu era ne yeeyama okusasula mu
kibanjampola. Wavamuno yamuwa akawunti za bbanka kw’aba ateeka ssente, kyokka n’atakikola. Kati Wavamuno agamba nti ekikolwa kya Kamya eky’okulemera mu nnyumba ye, kyenkanankana n’okusaalimbira ku ttaka eritali lirye, era amulemesezza okweyagalira mu ntuuyo ze.
OKWEWOZAAKO KWA KAMYA
Kamya mu kwewozaako, agamba nti omusango guno gwawaabwa mu bukyamu, kubanga abaamuwaabira Wavamuno tabawanga ku buyinza kuloopa ku lulwe.
Agamba nti, muganda we obulamu bwe tebuli mu mbeera nnungi, era yalwala n’obulwadde bw’okwerabira, nga takyasobola kukola kusalawo kutuufu ku ngeri ebintu bye gye birina okuddukanyizibwamu.
Era nti, abaamuwaabidde bamulanga kusaalimbira ku ttaka eritali lirye, kyokka ng’ennyumba eyogerwako, Wavamuno yagimuwa mu bulungi nga muganda we agire ng’abeerawo, kati ate afuuka
atya agisaalimbiramu? Ono era awakanya empapula eziwa abasatu bano obuyinza okumuwaabira, ng’agamba nti za kifere kubanga omukono oguliko si gwa muganda we Wavamuno.
Kamya yali yasibwa e Luzira oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango gy’okubbisa emmundu n’obutemu, kyokka oluvannyuma kkooti n’emuddiramu n’esazaamu ekibonerezo ky’akalabba kye baali baamuwa, era n’ayimbulwa.

Tags: