Omukazi avudde mu mbeera ne yeggalira mu nnyumba n'omwana we ow'emyezi 11, ne yeekumako omuliro, omwana n'afa.
Waabadde waakayita wiiki nga ssatu, ng'omukazi Munnakenya afumisefumise abaana be bataano ebiso, ababiri ne bafa bwe baafunye obutakkaanya ne bba e Bbunga Ggaba.
Ettemu lino poliisi ly'ekyanoonyerezaako, libadde ku kyalo Lufunvu mu muluka gw'ekyetume mu ggombolola y'e Nakisunga e Mukono, Merika Namugambe 24, gy'agambibwa okugezaako okwekumirako omuliro mu nnyumba
Kitegeezeddwa nti yeggalidde mu nnyumba ne muwala we ow'emyezi 11, n'akuma omuliro bombi ne gubookya kyokka n'asobola okusimattuka ye omwana n'afa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti Namugambe bamukutte ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.