Amawulire

Omukazi yeeyokedde mu nju ne bbebi we ow'emyezi 11 lwa butakkaanya bw'afunye ne bba

Omukazi avudde mu mbeera ne yeggalira mu nnyumba n'omwana we ow'emyezi 11, ne yeekumako omuliro, omwana n'afa.

Omukazi yeeyokedde mu nju ne bbebi we ow'emyezi 11 lwa butakkaanya bw'afunye ne bba
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omukazi avudde mu mbeera ne yeggalira mu nnyumba n'omwana we ow'emyezi 11, ne yeekumako omuliro, omwana n'afa.

Kigambibwa babadde n'obutakKaanya ne bba era baayawukanye nga ye yinza okuba ensonga emuwalirizza okukola ekikolwa kino.

Waabadde waakayita wiiki nga ssatu, ng'omukazi Munnakenya afumisefumise abaana be bataano ebiso, ababiri ne bafa bwe baafunye obutakkaanya ne bba e Bbunga Ggaba.

Ettemu lino poliisi ly'ekyanoonyerezaako, libadde ku kyalo Lufunvu mu muluka gw'ekyetume mu ggombolola y'e Nakisunga e Mukono, Merika Namugambe 24, gy'agambibwa okugezaako okwekumirako  omuliro mu nnyumba

Kitegeezeddwa nti yeggalidde mu nnyumba ne muwala we ow'emyezi 11, n'akuma omuliro bombi ne gubookya kyokka n'asobola okusimattuka ye omwana n'afa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti Namugambe bamukutte ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Nju
Myezi
Butakkaanya
Kufuna