Amawulire

Ebyobugagga bya Ssematimba okuli n’amaka birugenda lwa bbanja

EYALI omubaka wa Busiro South, Peter Ssematimba, ali mu kattu, lwa bawannyondo kuteeka bya bugagga bye, okuli n’amaka amatiribona ku katale lwa bbanja.

Ssematimba, ku ddyo ge maka ge agasangibwa e Lubaga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EYALI omubaka wa Busiro South, Peter Ssematimba, ali mu kattu, lwa bawannyondo kuteeka bya bugagga bye, okuli n’amaka amatiribona ku katale lwa bbanja.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa bawannyondo ba Vital Signs Best Solutions, kigambibwa nti, Ssematimba ne kkampuni ye eya Semat Production Ltd, beewoola ssente okuva mu bbanka emu nga bagisingidde amaka ga Ssematimba agasangibwa ku Block 8 Plot 850 e Lubaga mu Kampala n’ettaka ku Block 400 ku poloti ez’enjawulo okuli; 87, 86, 82, 81 ne 80 erisangibwa ku kyalo Nganjo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Amaka gano gasangibwa mu divisoni y’e Lubaga mu Kampala okuliraana ofiisi za NIRA, mu Wagaba zooni, ng’okusinziira ku bawannyondo okuteeka ebintu bya Ssematimba ku katale kiddiridde okulemererwa okusasula ssente ze yeewoola. Mu kiwandiiko kino, Ssematimba yalagiddwa okusasula ssente zonna ezimubangibwa obutasukka nnaku 30, nga singa anaalemererwa ebyobugagga bye byakutundibwa ku nnyondo okusasula ebbanja lino.
Ono era yaweereddwa ennaku 14, okwamuka amaka gano okusobozesa bawannyondo okugenda mu maaso n’emirimu gyabwe nga singa taakikole baakumufulumya ku kifuba n’okuliwa ssente zonna ezinaasaasaanyizibwa ku mulimu guno.
Bano balambise nti, singa alemererwa okusasula ebbanja lino eby’obugagga bye bino bya kutundibwa ku nnyondo awatali kwebuuza ku muntu mulala yenna.
SSEMATIMBA ATANGAAZIZZA
Ssematimba bwe yabuuziddwa ku by’okutunda ebyobugagga bye ku nnyondo yategeezezza nga bwe yabadde tannategeezebwa mu butongole kyokka n’ategeeza nti, mu kiseera ekituufu yabadde wa kumanya ebikwata ku nsonga zino.
Yatuuse n’okwebuuza abeefuula abamulumirirwa ensonga ze we zibakwatirako kyokka ’asiima bonna abalaze okufaayo okw’enjawulo.
Yagambye nti, ebikwata ku byobugagga bye bibye ng’omuntu si bya kitongole era tebirina we bikwatira ku kibiina kye ekya NRM abamu kye balowooza nti, tekyandimulekeredde kubanga tebirina kakwate ku bya bufuzi.
EBIKWATA KU PETER SSEMATIMBA
Mu 1993, nga yaakava mu America yatandika nga D.J era pulodyusa mu Dungeon Studios mu Kampala ng’oluvannyuma yeegatta ku Capital Fm gye yava okwegatta ku CBS mu 1996.
Yatandikawo kkampuni ya Semat Production evunaanyizibwa ku birango, amawulire n’ebirala.
Mu 2001, yalekulira CBS n’atandika leediyo ye eya Super FM esangibwa e Lubaga okumpi n’eddwaaliro.
Mu 2016, yalondebwa ng’omubaka wa Busiro South ku kkaadi ya NRM kyokka kkooti n’emusazaamu lwa butabeera na buyigirize bwa S.6.
Empapula z’obuyigirize ze yafuna mu America kkooti yagaana okuzikkiriza. Kyokka  yajulira mu kkooti ejulirwamu n’emuzza mu Palamenti. Yavuganyaako ku kifo ky’obwa Loodi Mmeeya bwa Kampala ku kkaadi ye NRM n’awangulwa. Yaliko Ssentebe w’eggombolola y’e Lubaga oluvannyuma lw’okufa kwa Winnie
Makumbi eyali Ssentebe. Mu 2019, ku myaka 58, yaddayo okusoma ku Kakoola High School e Luweero n’afuna ebbaluwa ya S6. 

ABAGAGGA ABAZZE BAYUUGUUMA N’EBYENFUNA

Joseph Yiga Magandaazi owa Jomayi Property Consultants azze attunka n’amabanja agaasuula ne kkampuni ye ey’ettaka. Gye buvuddeko kkooti yamulangirira mu luse lw’abaavu lunkupe, kyokka n’ateekayo okusaba mu kkooti
ng’ayagala esazeemu ensala eno. Mu 2016 ekizimbe kya Yiga Chambers ku Old Kampala n’ettaka e Nalumunye byatundibwa ku nnyondo lwa bbanja lya
bukadde 868.
lEyali omugagga Apollo Nyegamehe eyali amanyiddwa nga Aponye, naye oluvannyuma lw’okufa, bbanka zaatandika okulanga ebyobugagga bye mu mpapula z’amawulire nga bitundibwa ku nnyondo, olw’amabanja ge yaleka abaasigalawo ne gabalema okusasula.
lPaasita Jackson Ssenyonga owa Christian Life Ministries e Bwaise, bawannyondo baali bamaliridde okutunda eby’obugagga bye ebisangibwa e Makerere Kibuga, lwa bbanja lya buwumbi 5 n’obukadde 200 mu 2013, muno mwalimu ekizimbe kya kalina n’ettaka lya yiika 1.26.
Abagagga abalala nga Patrick Bitature, Hamis Kiggundu, Simbamanyo n’abalala
bazze battunka ne bbanka ez’enjawulo olw’amabanja agabali mu bulago

Tags: