Dr. Naghib Bogere, omukugu mu kujjanjaba kookolo w’amawuggwe mu kitongole kino, omu ku beetaba mu kunoonyereza okwakolebwa mu 2022 ku bulwadde buno era agamba nti, abakyala abamulwala bangi okusinga ku basajja. Baazuula nga ku balwadde 207 abaakolebwako okunoonyereza, 117. 5 nga bye bitundu 57 ku 100 baali bakyala.
Bogere agamba nti, abalwadde
abaafa oluvannyuma lw’okufuna kookolo w’amawuggwe baali bangi okusinga ku baawona.
“Twatandika okunoonyereza ng’abalwadde bali 207, kyokka mu myezi ena n’ekitundu, abalwadde 100 baali bamaze okufa, we twawereza emyaka ebiri n’ekitundu twali usigazzaawo abalwadde bataano nga 202 bonna bafudde,” Dr. Bogere bw’ategeeza.
EBIVAAKO KOOKOLO W’AMAWUGGWEDr. Bogere annyonnyola nti, tewali kawuka kaleeta kookolo w’amawuggwe, wabula embeera z’abantu ze tubeeramu okuli :
1 Okunywa ssigala n’ebiragalalagala : Okunywa ssigala kyongera emikisa gy’okulwala kookolo w’amawuggwe kubanga taaba alimu ekirungo eky’obutonde ekikosa amawuggwe buli lw’omuyingiza, ate n’akamwa singa omugaaya.
Ennaku zino abantu banywa taaba mu ngeri ez’enjawulo okuli ne shisha, mu mmindi. Kikutwalira akabanga okutandika okulaba ng’akukosa kubanga akulwaza mpola mpola.
2 Bw’obeera okumpi n’abantu abafuuweeta sigala obeera n’emikisa mingi okukwatibwa
amangu kookolo w’amawuggwe okusinga abamufuuweeta.
3 Omukka oguva mu nku ezifumbisibwa emmere nagwo gulwaza kookolo w’amawuggwe era ekirowoozebwa nti, yandiba ensonga lwaki omuwendo gw’abakyala abalwala kookolo w’amawuggwe gweyongera.
Okunoonyereza kulaga ng’abakyala abalwala kookolo ono babeera tebafuuweetangako ku sigala.
4 Waliwo ggaasi w’omu ttaka (Radon) alwaza kookolo ng’ono asibuka mu misingi
gy’amayumba egyazimbibwa obubi.
5 Ffamire bw’ebeeramu abantu abaalwalako kookolo w’amawuggwe, akawuka katambulira mu musaayi.
6 Waliwo amabaati ekika kya (Asbestos) agalimu ekirungo ekifuumuuka nga kyongeza emikisa gy’okulwala kookolo w’amawuggwe.
7 Okussa omukka gw’omu makolero, emmotoka naddala enkadde, n’emikka egiva mu kwokya ebintu eby’enjawulo omuli n’ebyo ebivaamu eddagala ery’abantu, ebisolo n’ebirime ebisaanye okukolebwako abakugu, nakyo kyongeza emikisa gy’okumulwala.
8 Eddagala erimu erikozesebwa okufuuyira ebirime nalyo mulimu ebirungo ebyongeza emikisa gw’okulwala kookolo w’amawuggwe singa likozesebwa bubi.
KW’OLABIRA KOOKOLO W’AMAWUGGWE
Kookolo w’amawuggwe talina bubonero bwa mbagirawo omuntu kw’alabira nti, amulina olw’okuba afaanana n’endwadde eza bulijjo ng’ekifuba, wabula obubonero obw’amaanyi butandika okuvaayo nga kookolo ali ku siteegi eyookuna okuli,
okukolola omusaayi, n’okufuna amazzi mu mawuggwe nga tossa
bulungi.
LWAKI BATONO ABAWONA KOOKOLO W’AMAWUGGWE
Dr. Bogere agamba nti, ku bantu abalwala kookolo, 93 ku 100 batuuka mu malwaliro nga bali ku mutendera ogwokuna, olw’okuba basooka kwejjanjaba kifuba nga balowooza nti, kye kibaluma.
Mu nsi z’ebweru, omulwadde bw’abeera ku siteegi esooka, aba n’emikisa 65 ku 100
egy’okuwona, ku yookubiri 40 ku 100, eyookusatu 30 ku 100 ate eyokuna 8 ku 100, era bwe kiri ne mu Uganda.
ENZIJANJABA YA KOOKOLO W’AMAWUGGWE
Ajjanjabwa okusinziira ku siteegi kw’aba atuuse era n’embeera y’obulamu bw’omulwadde.
Tulongoosa akazimba akabeera mu mawuggwe, era bwe kiba kyetaagisa tulongoosa ebitundu ebyo ebibeera biriiriddwa kookolo.
Tubawa eddagala eritta obuwuka bwa kookolo eriyitibwa ‘Chemotherapy’.
Waliwo eriweebwa abalwadde nga ebannalongoosebwa n’eribaweebwa nga bamaze okulongoosebwa.
Waliwo abaweebwa eddagala eriyamba okuwa obutoffaali bw’omubiri amaanyi kye tuyita ‘Immunetherapy’.
Tubakalirira okutta obuwuka obusirikitu obulwaza kookolo.
Waliwo kye tuyita ‘Targeted Therapy’ ng’omuntu aweebwa eddagala okutta obuwuka bwa kookolo. Ebika by’enzijanjaba bino byonna bikozesebwa okuyamba omuntu okuwona.
NNEEWALA NTYA KOOKOLO W’AMAWUGGWE
1 Weewale okufuuweeta ssigala n’okukozesa ebiragalalagala omuli enjaga, shisha, emmindi n’ebirala.
2 Okukendeeza ku kufumbira ku nku.
3 Okuzimba obulungi emisingi gy’ennyumba kiyambeko obutayingiza mukka oguva mu
ttaka.
4 Okukozesa amabaati agali ku mulembe.
5 Okwegendereza ng’ofuuyira ebirime.
6 Okwekebeza amangu ddala ng’ofunye ekifuba ekitali kya bulijjo.