Amawulire

Mukole obuweereza obutali bwa kusasula - Mayiga

KATIKKIRO wa Buaganda, Charles Peter Mayiga asabye Bannayuganda okwemanyiiza okuweereza awatali kusooka kulowooleza mu kusasulwa nsimbi.

Katikkiro Mayiga (ku ddyo) ng’abuuza ku mukubiriza w’Obulabirizi bw’e Namirembe, Geoffrey Kulubya.p
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buaganda, Charles Peter Mayiga asabye 
Bannayuganda okwemanyiiza okuweereza awatali kusooka kulowooleza mu kusasulwa nsimbi.

 

Obuweereza ekikula kino, Mayiga yagambye nti bwe bukolebwa ne bubukala, bubaamu
empeera omuntu gy’atasobola kulaba na maaso ge.


Okwogera bino, yabadde aggulawo omusomo gw’okubangula abakiise mu lukiiko
lw’Obulabirizi bw’e Namirembe (Sinodi) ogwabadde ku Bp. Dunstan Nsubuga Hall ku Lutikko e Namirembe ku Lwokuna n’agamba nti singa buli kimu mu kkanisa kyali kya kusasulira, ekigambo kya Katonda tekyandibunye nsi yonna.


Mayiga, yaweereddwa okwogera ku mulamwa ogugamba nti; ‘Okuweereza Katonda nga tosuubira kusasulwa nsimbi’ n’agamba nti awatali buweereza kikula kino mu kkanisa, mu Bwakabaka, Ebika n’ebitundu ebirala, tewabaawo kukulaakulana.

 

“Ekkanisa eterina baweereza abakola awatali kusooka kusasulwa, tekula. Awatali buwereeza, tewabeera kugenda mu maaso,” Mayiga bwe yayogedde.


Yawadde ekyokulabirako ky’Obwakabaka bwa Buganda obwaddawo mu 1993 nti abantu bangi baawaayo obudde okukola obuvunaanyizibwa obw’enjawulo okuli abaali mu nteekateeka y’okulambuza Kabaka Obuganda, mu nteeseganya ne Gavumenti eya wakati n’ebirala era singa kino tekyali bwe kityo, osanga Kabaka teyanditikkiddwa.

 

Katikkiro Mayiga eyawerekeddwaako Baminisita okuli; Dr. Anthony Wamala ow’ebyobuwangwa ne Robert Sserwanga ow’abavubuka n’emizannyo, yakulisizza Geoffrey Kulubya ku kifo ky’Omukubiriza w’Abakristaayo mu Bulabirizi buno okudda mu kifo kya Kyewalabye Male eyaliko Minisita w’ebyobuwangwa e Mmengo.

 

Kulubya yabuulidde Katikkiro Mayiga ng’Obulabirizi bwe bulina ettaka naye ebitundu 35 ku 100 eby’ettaka lino, tebalina kye balikolerako ng’ate si bwe kyandibadde nga banoonya amagezi okulaba nga balikolerako emirimu omuva ssente.


Omuwandiisi w’Obulabirizi buno, Can. Henry Ssegawa era nga ye yayanirizza Katikkiro ku lw’Omulabirizi Moses Banja ataabaddewo, yatenderezza enkolagana eriwo wakati w’Obwakabaka ne Namirembe n’asaba ekuumibwe.

Tags:
KATIKKIRO
Charles Peter Mayiga
Ekkanisa
Obwakabaka