Amawulire

katikkiro Mayiga asisinkanye Abakenyi abava mu ssaza lye Bugerere

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye ab'eggwanga  ly'Abakenyi ababeera mu ssaza ly'e Bugerere neeyeyama ku lw'Obwakabaka okunyweza enkolagana ya Mmengo nabo okulaba nga batambulira wamu.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri Abakenyi
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye ab'eggwanga  ly'Abakenyi ababeera mu ssaza ly'e Bugerere neeyeyama ku lw'Obwakabaka okunyweza enkolagana ya Mmengo nabo okulaba nga batambulira wamu.

Mmengo nga bwekola ku  nkolagana n'Abakenyi, yakugenda mu maaso n'okunoonya abantu baayo abasasanidde ensi  yonna.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri Abakenyi e Mmengo

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri Abakenyi e Mmengo

Ensisinkano eno ebadde ku mbuga ya Buganda enkulu e Bulange-Mmengo emisana ga leero n'agamba nti obukulembeze bw'enjuuyi zombi bugenda kubangawo empuliziganya okulaba ng'ensonga z'Abakenyi zituukirizibwa.
"Tugenda kubangawo empuliziganya wakati wakati w'Obukulembeze bw'Obwakabaka wano e Mmengo okulaba ng'ensonga ezikwata ku Bakenye nga zigonjoolwa," Mayiga bwagambye.

Katikkiro Mayiga asinzidde wano n'asibirira   Abakenyi entanda okuli obuteerabiranga buvo bwaabwe, okunyikirira okukola ennyo ate n'okusoma bwebanabeera bakusobola okukyusa embeera z'obulamu bwaabwe.

Abakenye bano bakulembeddwamu eyaliko Minisita omubeezi ow'obwegassi, Nsamba Kumama ng'ono  era y'akulira ekibiina ki Bakenye Elders Council.

katikkiro ng'ali n'Abakenyi e Mmengo

katikkiro ng'ali n'Abakenyi e Mmengo

Nsamba Kumama agambye baagala okulaba ng'Obwakabaka buddamu okuyingira mu nsonga zaabwe, babeera nga batulira ddala wano mu Buganda wagambye nti webaasibuka era n'alaga eggwanga lyokka eritegaana kakwate na Bakenyi, bwe Bwakabaka bwa Buganda.

Kumama era akwasiza Katikkiro Mayiga ekiwandiiko omuli ensonga zaabwe okuli okusaba okusisinkana Ssabasajja Kabaka okwongera okumunyonyola ebikwata  ku Bakenye, okufuna ekifo eky'enkalakalira webatuula wano mu Buganda, okuddamu okukikirirwa mu Lukiiko ne Kabineeti ya Buganda.

"Abantu baffe bayise mu kusomoozebwa okutagambika nga bangi baatuuka n'okuyingira mu mawanga amalala olw'okuba nti buli wamu bababoola, babeera mu mbeera ey'okwenyooma. Yonna Abakenye gyebasasanidde, eggwanga lyokka eritabeegana bwe Bwakabaka bwa Buganda," Kumama bweyagambye.

Ye Peter Kiriggwajjo nga yaddukanya emirimu gy'ekibiina ekitaba enkulakulana mu bantu bano ki Bakenye Isaanga Development Association  asabye Obwakabaka bwa  Buganda okubayambako okubanja ssente n'ebintu byaabwe byebaafirwa mu  busambattuko obwaali mu bitundu bye Teso ne Lango.

Kumama ng'akwasa Katikkiro Mayiga  (ku ddyo) ekiwandiiko ekikwata ku nsonga z'abakenye

Kumama ng'akwasa Katikkiro Mayiga (ku ddyo) ekiwandiiko ekikwata ku nsonga z'abakenye


" Abakenye be bamu ku bantu abaasinga okukosebwa obusambatuko obwaali e Teso, Lango. Twafiirwa ente, n'ebirala bingi. Tumaze ebbanga nga tusaba okuliyirirwa naye nga bwolina eddoboozi, tusaba tuyambibweko," Kirigwajjo bwayogedde.

Mayiga agambye nti Abakenye bano babamanyi bulungi nga baava kuno ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro eyasalawo  okubonereza abantu beyatuma okukwata n'Okuwamba mukulu we Ssekabaka Jjunju kyokka bbo nebamutta busi, ekintu ekyamunyiiza.
Bangi ku bano baddukira Busoga, Teso, Lango, Busia ng'eno gyebafunira erinnya ly'Abakenye ate abalala baddukira Bunyalugulu mu Ankole ate n'e Kitagwenda mu Tooro

Tags: