Emmeeri eya MV NODL ebadde yayimiriza emirimu gyayo okuva e Bukasa nga edda e Nakiwogo yakuddamu okukola olunaku olw’enkya oluvannyuma lw’okuddabirizibwa.
Eno yafuna obuzibu mu mwezi ogw'omunaana yingini zaayo bwezalemererwa olw’obutimba obwazika.
“Tusobodde okujiddaabiriza amangu olw’ensonga nti abantu baffe tebakyasobola kukozesa binaala ate bali mukadde kakuzza baana ku masomero naye tusubira mu bbanga eritali ly’ewala ejja kugenda ku dry dock,” Hajji Sadala Musoke akulira NODL bwategezezza.
Ono asabye abavubi obutatega butimba mu kkubo emmeeri eno mweyita nti kubanga okufa kwaayo kwekyava era obuwereza ne butataagana nga ejjiddwaawo.