KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye ab'eggwanga ly'Abakenyi ababeera mu ssaza ly'e Bugerere neeyeyama ku lw'Obwakabaka okunyweza enkolagana ya Mmengo nabo okulaba nga batambulira wamu.
Mmengo nga bwekola ku nkolagana n'Abakenyi, yakugenda mu maaso n'okunoonya abantu baayo abasasanidde ensi yonna.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri Abakenyi e Mmengo
Ensisinkano eno ebadde ku mbuga ya Buganda enkulu e Bulange-Mmengo emisana ga leero n'agamba nti obukulembeze bw'enjuuyi zombi bugenda kubangawo empuliziganya okulaba ng'ensonga z'Abakenyi zituukirizibwa.
"Tugenda kubangawo empuliziganya wakati wakati w'Obukulembeze bw'Obwakabaka wano e Mmengo okulaba ng'ensonga ezikwata ku Bakenye nga zigonjoolwa," Mayiga bwagambye.
Abakenye bano bakulembeddwamu eyaliko Minisita omubeezi ow'obwegassi, Nsamba Kumama ng'ono era y'akulira ekibiina ki Bakenye Elders Council.

katikkiro ng'ali n'Abakenyi e Mmengo
Nsamba Kumama agambye baagala okulaba ng'Obwakabaka buddamu okuyingira mu nsonga zaabwe, babeera nga batulira ddala wano mu Buganda wagambye nti webaasibuka era n'alaga eggwanga lyokka eritegaana kakwate na Bakenyi, bwe Bwakabaka bwa Buganda.
Kumama era akwasiza Katikkiro Mayiga ekiwandiiko omuli ensonga zaabwe okuli okusaba okusisinkana Ssabasajja Kabaka okwongera okumunyonyola ebikwata ku Bakenye, okufuna ekifo eky'enkalakalira webatuula wano mu Buganda, okuddamu okukikirirwa mu Lukiiko ne Kabineeti ya Buganda.
"Abantu baffe bayise mu kusomoozebwa okutagambika nga bangi baatuuka n'okuyingira mu mawanga amalala olw'okuba nti buli wamu bababoola, babeera mu mbeera ey'okwenyooma. Yonna Abakenye gyebasasanidde, eggwanga lyokka eritabeegana bwe Bwakabaka bwa Buganda," Kumama bweyagambye.
Ye Peter Kiriggwajjo nga yaddukanya emirimu gy'ekibiina ekitaba enkulakulana mu bantu bano ki Bakenye Isaanga Development Association asabye Obwakabaka bwa Buganda okubayambako okubanja ssente n'ebintu byaabwe byebaafirwa mu busambattuko obwaali mu bitundu bye Teso ne Lango.

Kumama ng'akwasa Katikkiro Mayiga (ku ddyo) ekiwandiiko ekikwata ku nsonga z'abakenye
Mayiga agambye nti Abakenye bano babamanyi bulungi nga baava kuno ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro eyasalawo okubonereza abantu beyatuma okukwata n'Okuwamba mukulu we Ssekabaka Jjunju kyokka bbo nebamutta busi, ekintu ekyamunyiiza.
Bangi ku bano baddukira Busoga, Teso, Lango, Busia ng'eno gyebafunira erinnya ly'Abakenye ate abalala baddukira Bunyalugulu mu Ankole ate n'e Kitagwenda mu Tooro