Amawulire

Ssaabawolereza wa Gavumenti yejjuludde n’awagira okutuuza Omukama omupya

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti Dr. Sam Mayanja yeekyusirizza mu kiti ng’embazzi n’awagira emikolo gy’okutikkira Omukama wa Tooro omuggya Edward Lukidi Nyabongo gigende mu maaso ng’ate yali yasooka kugiwakanya.

Ssaabawolereza Dr. Sam Mayanja ng’ayogera n’amyuka Pulezidenti wa ULS, Anthony Asiimwe (ku ddyo)
By: EMMANUEL SSEKAGGO, Journalist @New Vision

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti Dr. Sam Mayanja yeekyusirizza mu kiti ng’embazzi n’awagira emikolo gy’okutikkira Omukama wa Tooro omuggya Edward Lukidi Nyabongo gigende mu maaso ng’ate yali yasooka kugiwakanya.


Bino Sam Mayanja yabyogeredde ku Speke Resort e Munyonyo bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’ekibiina ekigatta Bannamateekaekya Uganda Law Society (ULS) okukubaganya ebirowoozo ku ngeri gye basobola okweyambisa tekinologiya aliwo nga bakola emirimu gyabwe ate mu ngeri ekkirizibwa mu mateeka.


Dr. Mayanja yagambye nti kituufu yabadde awabudde Pulezidenti Museveni nti ekiraamo kya Omukama Oyo kye kirina okugobererwa mu kulonda Omukama omupya kyokka yakizudde nti ekiraamo kya Oyo ekyali kyogerwako kirina ebintu bye kitaggyaayo.


Yayongeddeko nti yali alaamidde omwana omulenzi bw’aliba w’afiiridde alibaawo oba batabani b’omusuuga babiri okusikira Engoma singa aba afudde nga talina mwana mulenzi kyokka nga yakitegedde nti mu buwangwa bwa Tooro, omwana tasobola kulya Ngoma nga kitaawe mulamu ekitegeeza nti ne batabani b’Omusuuga babeera bava mu kibalo ng’ekiba kijulidde lwe lukiiko lw’Ababiito okutuula nebalonda Omukama omuggya.


Yategeezezza nti kati awagira enteekateeka zonna ez’okutuuza Omukama wa Tooro omuggya era n’akakasa nti byonna ebikolebwa tebirina webikontanira na mateeka.


Ku nsonga y’obutakkaanye obubaddewo wakati w’esiga eddamuzi n’ekibiina ekitwala bannamateeka nga bwaviirako ne Pulezidenti waakyo Isaac Ssemakadde okudduka mu ggwanga n’ategeeza, nti ng’ali mu kifo kya Ssaabawolereza wa Gavumenti, obutakkaanya buno ajja kukakasang’abumalawo.

Tags:
Dr. Sam Mayanja
Omukama wa Tooro
Edward Lukidi Nyabongo