SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti Dr. Sam Mayanja akubirizza Bannamateeka mu ggwanga okubeera abeegendereza nga bakozesa tekinologiya aliwo mu kutuusa obuwereza obw’enjawulo eri Bannayuganda.
Bino Dr. Mayanja abyogeredde ku Speke Resort e Munyonyo mu lukungaana olwategekeddwa ekibiina ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society (ULS) olwatuumiddwa Tech Fest ng’ekigendererwa kyalwo ekikulu kyabadde kya kukubaganya birowoozo ku ngeri bannamateeka gyebasobola okweyambisa obulungi tekinologiya aliwo mu kutuusa obuweereza bwabwe eri Bannayuganda.

Ssaabawolereza wa Gavumenti Dr. Sam Mayanja (ow'okusatu ku ddyo) ng'ali n'abamu ku bakulembeze b'ekibiina ekigatta Bannamateeka. Okuva ku ddyo ye Tony Kiire Kalandi ne Anthony Asiimwe ate ow'okubiri ku kkono ye Arthur Isiko
Mu bubaka bwe eri Bannamateeka, Dr. Mayanja yagambye nti tekikyali kya nkizo, Bannamateeka okufananako ne Bannayuganda abalala bakozesa tekinologiya ali ku mutimbagano okutuusa ku bakasitooma baabwe obuweereza gamba ng’okuwandiika endagaano, okuwandiika empoza y’emisago n’ebintu ebirala kyokka n’abakubiriza okubeera abeegendereza ennyo kubanga tekinologiya ono kyangu nnyo okubakozesa ensobi.
Yeebazizza aba ULS okutwala obuvunaanyizibwa obw’okukubanga ebirowoozo ku nkozesa ya tekinologiya entuufu kyokka n’abakuutira okujjukiranga okukuuma ebyama by’abantu kubanga ku mulembe guno ogwa tekinologiya gwetulimu, singa munnamateeka asiiwuka empisa n’asalawo okusasaanya ebyama by’abalala, mu bbanga ttono nnyo biba bibunye ensi yonna.

Ssaabawolereza wa Gavumenti Dr. Sam Mayanja (wakati) ng'ali n'amyuuka Pulezidenti wa ULS Anthony Asiimwe