Amawulire

Essomero lya Nakivubo Settlement lirugenda

OMUGAGGA awomye omutwe mu kutwala ekibangirizi kya City Square atandise okwogeza Bannakampala obwama bwe kizuuse nti, ettaka okutudde essomero lya UPE erya Nakivubo Settlement P/S nalyo yalisabye Pulezidenti Museveni.

Essomero lya Nakivubo Settlement lirugenda
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUGAGGA awomye omutwe mu kutwala ekibangirizi kya City Square atandise okwogeza Bannakampala obwama bwe kizuuse nti, ettaka okutudde essomero lya UPE erya Nakivubo Settlement P/S nalyo yalisabye Pulezidenti Museveni.
Hajj Hassan Bulwadda okusaba ettaka ly’essomero lino ery’ebyafaayo, yawandiikidde Pulezidenti Museveni ng’amulaga nti ateekateeka ku ttaka eryo okussaako pulojekeiti ey’ebyemikono okutendeka abavubuka ba Ghetto ne bamufunampola mu Kampala.

Mu kusaba kwe, yasabye abaana ababadde basomerawo batwalibwe mu ssomero lya UPE erya Nakivubo Blue P/S bwe baliraanaganye.Yalaze nti, embeera eyeetoolodde essomero eryo ya busuubuzi okuli n’abaana ba Ghetto abasula okumpi n’essomero eryo era ekisaawe ky’essomero abavubuka kye bakozesa.
Minisita wa Kampala n’emiriraano, Hajjat Minsa Kabanda yagambye nti yayagala dda okufuna ebirowoozo ebisobola okuyambako okukyusa ebyensoma mu kifo ekyo naddala okussaawo ettendekero ly’emikono kubanga mu Kampala Central naddala Kisenyi temuli matendekero gayamba baana ba Ghetto kusoma.
Kabanda yagambye nti, agenda kukola nga Pulezidenti bwe yamulagidde, anoonyereze n’okuwandiikira ebitongole eby’enjawulo bimuwabule oluvanyuma azzeeyo lipooti nga bwe yalagiddwa.
Pulezidenti yalagidde minisita Minsa Kabanda akolagane n’aba KCCA banoonyereze ku kusaba kwa Hajji Hassan Bulwadda oluvannyuma baddeyo gy’ali ne lipooti bamwanjulire kye bazudde.
MMEEYA UHURU ABIGAANYE
“Nze nayanjula entegeka y’okukyusa essomero eryo lifuulibwe ery’emikono nga ffe KCCA ffe abakikoze nga teritundiddwa ate omugagga alisaba atya? Tetukikkiriza ekyo era abiveeko,” Meeya wa Kampala Central Salim Uhuru bwe yagambye.
Yalabudde minisita Minsa Kabanda okuwa Pulezidenti lipooti entuufu nti, bwe kuba kukyusa ssomero eryo kiteekwa kukolebwa KCCA oba Gavumenti wabula si musigansimbi era ba musigansimbi. Yawadde bamusigansimbi amagezi bagende e Nakasongola batandike okwekwata ebifo eyo kubanga Kampala ejjudde tewakyali ttaka lya Gavumenti litundibwa.
Wabula minisita wa Kampala omubeezi, Kabuye Kyofatogabye yategeezezza nti, Pulezidenti yabalagidde banoonyereze ku kusaba kwa Hajj Bulwadda era kye bagenda okukola amangu ddala bagenda kuddayo bamutegeeze.
Aba KCCA oluwulidde kino, ne batabuka nti tebagenda kukkiriza baana ba ggwanga ababadde basomera mu kifo ekyo kutaataaganyizibwa ate nga babadde batandise kaweefube anoonyeza essomero lino abaana n’okuliddaabiriza.
Omumyuka wa Loodi mmeeya, Faridah Nakabugo yagambye nti, bangi babadde beewaga mu kwagala okutwala essomero lino naye ne balibagobako era ne Hajj Hassan Bulwadda amala bya mu bulago.
“Tetugenda kukkiriza bazadde n’abaana b’eggwanga kutaataaganyizibwa nti essomero lyabwe balisenguddewo era kati tugenda kutandika kukwata bukwasi buli asonga ku ssomero eryo ookulitwala” Nakabugo bwe yagambye.

Tags: