EKITONGOLE ekivunanyizibwa ku bibuuzo by’abayizi abasoma eby'emikono n’ebya bizinensi ki Uganda Vocational and Technical Assessment Board, (UVTAB), kifulumizza ebyaava mu bigezo by’abayizi abaatula ebyakamalirizo .
Omukolo gw’okubifulumya gubadde ku kitebe kya UVTAB e Kyambogo .

Minisita Muyingo ng'ayogera
Abayizi 14,382 kwabo 17,038 abaatuula ebibuuzo, by'ebitundu 84.4% baabiyise bulungi.
Ssabawandiisi wa UVTAB Onesmus Oyesigye bwabadde afulumya ebyavudde mu bibuuzo bino, agambye nti abaana abawala baakize ku balenzi mu kubiyita ebibuuzo mu masomo gebyobusuunuzi ne Business, abalenzi nebakira mu masomo geeby'obulimi ne tekinolojiya.

Minisita Muyingo ng'ali n'abakungu ba UVTAB
Akola nga minister w'ebyenigiriza n’emizanyo, Dr. JC Muyingo, asinzidde mu kufulumya ebibuuzo n'akakasa nti gavumenti yakwongera okuwagira amasomo geebyemikono kuba ly’ekkubo eritunuliddwa okusitula eby’enfuna by'eggwanga.
Muyingo era ategeezeza nti gavumenti eri mu kaweefube wakulaba nga amasomo agasookerwako mu by’emikono gabwerere nga bwekiri mu masomero ga gavumenti aga pulayimale ne siniya .