OMUYIIYA w’ennyimba ez’Eklezia Rev. Fr. Dr. James Kabuye afiiridde ku myaka 92.
Fr.Kabuye yafiiridde mu ddwaliro lya St.Francis Nsambya gyamaze ebbanga ng’atawanyizibwa obulwadde, amawulire gw’okufa kwe gakasiddwa omuwandiisi w’Essaza lya Kiyindi Mityana Rev. Fr. Emmanuel Tamale.
Mukiwandiiko kye yafulumizza ku lw’Omusumba w’Essaza lye Mityana Rt.Rev.Joseph Antony Zziwa , yabikidde Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere , Kalidinaali Emmanuel Wamala, Omusumba we Masaka Serverus Jjumba, Omusumba we Kasana Luweero Lawrence Mukasa n’owe Lugazi Christopher Kakooza, bannadiini, abakristu n’abantu bakatonda bonna.

Fr Dr,James Kabuye ng'ali ne bannaddiini abalala
‘’Twebaza Katonda olw’obulamu n’obuweereza bwe, tusaba Katonda amuwumuze mirembe’’ Fr.Tamale bwe yategeezezza
Fr.Dr. Kabuye abadde wa tutuumu olw’ekitone ky’obuyiiya bwe nyimba ezitendereza omutonzi.
EBYAFAAYO BYE
Yazaalibwa abagenzi Pia Alibayagadde n’omusomesa wa katikisimu Yakobo Baziwandiika abe Ttanda mu Mityana nga January 14,1939.
Okusoma yakutandikira mu Naluggi Primary School gye yava okwegatta ku Seminaliyo ento eye Bukalasa ng’oluvannyuma yeyunga ku Seminaliyo enkulu eya Katigondo.
Oluvannyuma wiiki bbiri ngawereddwa obusaserdooti mu 1962, mu lutikko e Lubaga yasindikibwa mu ggwanga ya Switzerland okwongera okubangulwa mu by’enyimba, ng’eno gye yafunira omukisa omulala okwegatta ku ttendekero lya Marian College eritendeka enyimba z’ekikatuliki mu America gye yamala emyaka esatu.
Bino byadirira Ssaabasumba omugenzi Joseph Kiwanuka okumuzulamu ekitono ky’okuyimba eky’enjawulo.
Mu 1967, yagabibwa ku lutikko e Lubaga, natandika okukyusa ennyimba z’ediini okuva mu lulatiniMitala Maria, essaza lya Kiyinda Mityana ,essomero lya Bathany High School n’ettendekero ly’basomesa b’eddiini erya Mityana Catechetical Training Centre.
Ezimu ku nnyimba zeyayiiya kuliko; Nja Kuyingira, Nga Nnungi, Nga Nnungi, Tusimbe Ffenna mu Kisinde, Beesiimye Nnyo Abatukuvu, Ayi Mukama Otenderezebwe, Tukwebaza Trinita Katonda Omu, Nzuuno Nkonkona, Nngambe Ntya? Yezu Nkusinza, Tukusinza Yezu Kabaka, Nze Mugati gw'Obulamu, Tugulumizze Omukama Yeruzalemu, Katonda Taata, Katonda Anaabakuumanga, Oli Musiige, Natenda ng’Omukama, Yeggwe Katonda wa Bajjajjaffe n’endala nyingi.
Okuwandiika enyimba yakutandika ku myaka 1960, ng’akyali mu seminaliyo ye katigondo.
Fr.Kabuye wakuziikibwa ku Lwomukaaga ku lutikko ya Kiyinda Mityana.