POLIISI ekutte abantu musanvu okuli n’omukazi, abagambibwa nti baludde nga bakuba aba bodaboda kalifoomu ne bababbako pikipiki zaabwe.
Abaakwatiddwa kuliko; Asiimwe Brian, Otim Morgan, Sisye Ibra agambibwa okuba nti ye musawo abaguza kalifoomu, Ssekitooleko Edward, Lukwago Isma, Nagasha Shanita ne Ssekinde Juma. Baakwatiddwa mu kikwekweto ekyakuliddwa aduumira poliisi mu Kampala South, Rogers Seguya ng’ali n’aba Flying Squad.
Nagasha ye yasoose okukwatibwa era olwamutuusizza ku poliisi e Nateete, n’aloopa banne mukaaga okuli n’omusawo, abadde abaguza empeke ze bateekera be bagenda okunyaga mu mwenge ne bawunga.
Bano olwatuuse mu maaso g’abaserikale ne beerumiriza buli omu omulimu gw’akola. Wano omukazi we yategeerezza nga ye omulimu gwe bwe guli ogw’okutuula mu bbaala, bwe baleeta owa boda ng’anyumya naye ng’amusendasenda asabe ky’anywa. Ekika kya bbiya omusajja ky’asaba, n’omuwala ono ky’atumya, olwo ne babeera n’eccupa nga zifaanagana.
Omukazi wano w’ateekera empeke ezeebasa mu ccupa ye oluvannyuma n’awaanyisa n’agiwaamu omusajja mu magezi.
Afande Seguya yasinzidde ku poliisi n’asaba ababbiddwaako pikipiki zaabwe mu bitundu okuli; Ssentema, Bukasa, Kakiri Namusera, Kitagomba, Kiteezi, Matugga, Kawanda, Masooli, Kigoogwa Matugga, Mukono, Namanve, n’awalala okujja ku poliisi e Nateete balabe oba bano be baazibba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala agambye nti, essaawa yonna abakwate bagenda kusimbibwa mu kkooti bavunaanibwe obubbi n’obutemu.